Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 23

Beeyama eri Yakuwa

Beeyama eri Yakuwa

Oluvannyuma lw’emyezi ebiri nga bavudde e Misiri, Abayisirayiri baatuuka ku Lusozi Sinaayi ne basiisira okumpi nalwo. Yakuwa yayita Musa waggulu ku lusozi n’amugamba nti: ‘Nnanunula Abayisirayiri. Bwe banaŋŋondera era ne bakwata amateeka gange, bajja kufuuka bantu bange ab’enjawulo.’ Musa yava ku lusozi n’agenda eri Abayisirayiri n’ababuulira Yakuwa kye yali agambye. Kiki kye baakola? Baamugamba nti: ‘Byonna Yakuwa by’atugamba tujja kubikola.’

Musa yaddayo ku Lusozi. Ng’ali eyo, Yakuwa yamugamba nti: ‘Nga wayise ennaku ssatu, nja kwogera naawe. Labula abantu baleme kujja ku Lusozi Sinaayi.’ Musa yava ku lusozi n’agenda eri abantu n’abagamba beeteeketeeke okuwulira Yakuwa ng’ayogera.

Nga wayise ennaku ssatu, Abayisirayiri baalaba ebimyanso n’ebire ebikwafu ku lusozi. Baawulira n’okubwatuka okw’amaanyi era n’eŋŋombe ng’evuga. Yakuwa yakka ku lusozi mu muliro. Abayisirayiri baatya nnyo era ne bakankana. Olusozi lwonna lwakankana nnyo era ne lunyooka omukka. Eŋŋombe yeeyongera okuvuga ennyo. Katonda yabagamba nti: ‘Nze Yakuwa. Temusinzanga katonda mulala yenna.’

Musa yaddayo ku lusozi, Yakuwa n’amuwa amateeka agaali galaga engeri abantu gye baalina okumusinzaamu n’engeri gye baalina okweyisaamu. Musa yawandiika amateeka ago era n’agasomera Abayisirayiri. Abayisirayiri baagamba nti: ‘Byonna Yakuwa by’atugambye okukola tujja kubikola.’ Bwe kityo, Abayisirayiri beeyama okukola Katonda bye yabagamba. Naye ddala baatuukiriza ekyo kye beeyama?

“Oyagalanga Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna.”​—Matayo 22:37