Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO  25

Weema Entukuvu

Weema Entukuvu

Musa bwe yali ku Lusozi Sinaayi, Yakuwa yamugamba okukola weema entukuvu, Abayisirayiri we bandibadde bamusinziza. Weema eyo bandibadde basobola okugisitula ne batambula nayo ku lugendo lwabwe.

Yakuwa yagamba Musa nti: ‘Gamba abantu baweeyo nga bwe basobola ebintu ebinaakozesebwa mu kukola weema entukuvu.’ Abayisirayiri baawaayo zzaabu, ffeeza, ekikomo, amayinja ag’omuwendo, n’amajolobera. Era baawaayo ebyoya by’endiga, engoye eza kitaani, amaliba g’ensolo, n’ebintu ebirala bingi. Baawaayo ebintu bingi Musa n’atuuka n’okubagamba nti: ‘Ebintu bye muwaddeyo bimala! Temuleeta birala.’

Abasajja n’abakazi abaalina obumanyirivu mu mirimu egy’emikono baayambako mu kukola weema. Yakuwa yabawa amagezi okusobola okukola omulimu ogwo. Abamu baakola wuzi ate abalala baakola engoye. Abalala baakola gwa kuwanga mayinja era baakola n’ebintu mu zzaabu ne mu mbaawo.

Abantu baakola weema nga Yakuwa bwe yali alagidde okugikola. Baakola olutimbe olulungi olw’okwawulamu weema ebitundu bibiri, Awatukuvu n’Awasinga Obutukuvu. Awasinga obutukuvu waaliyo essanduuko y’endagaano eyakolebwa mu mbaawo z’omuti oguyitibwa sita ne mu zzaabu. Awatukuvu waaliyo ekikondo ky’ettaala ekya zzaabu, emmeeza, n’ekyoto eky’okunyookerezaako obubaani. Mu luggya mwalimu ebbenseni ey’ekikomo n’ekyoto ekinene. Ssanduuko y’endagaano yajjukizanga Abayisirayiri nti baali beeyamye okugondera Yakuwa. Endagaano kye ki? Kiba kisuubizo eky’enjawulo ekiba kikoleddwa.

Yakuwa yalonda Alooni ne batabani be okuweereza nga bakabona ku weema. Baalina okulabirira weema n’okuwangayo ebiweebwayo eri Yakuwa. Alooni, kabona asinga obukulu, ye yekka eyali akkirizibwa okuyingira Awasinga Obutukuvu. Yayingirangayo omulundi gumu mu mwaka okuwaayo ssaddaaka olw’ebibi bye, n’eby’ab’omu maka ge, n’eby’eggwanga lya Isirayiri lyonna.

Abayisirayiri baamaliriza okuzimba weema nga wayise omwaka gumu bukya bava e Misiri. Kati baalina ekifo aw’okusinziza Yakuwa.

Yakuwa yajjuza weema ekitiibwa kye era n’assa ekire waggulu ku weema eyo. Ekire bwe kyasigalanga waggulu ku weema, Abayisirayiri baasigalanga mu kifo we baali. Naye ekire ekyo bwe kyasitukanga ku weema, Abayisirayiri baakimanyanga nti baalina okusitula okugenda. Baapangululanga weema ne bagoberera ekire.

“Ne mpulira eddoboozi ery’omwanguka okuva mu ntebe ey’obwakabaka nga ligamba nti: ‘Laba! Weema ya Katonda eri wamu n’abantu, era anaabeeranga wamu nabo, era banaabeeranga bantu be. Katonda kennyini anaabeeranga wamu nabo.’”​—Okubikkulirwa 21:3