Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 26

Abakessi Ekkumi n’Ababiri

Abakessi Ekkumi n’Ababiri

Abayisirayiri baava ku Lusozi Sinaayi ne bayita mu ddungu ly’e Palani ne batuuka mu kitundu ekiyitibwa Kadesi. Nga bali eyo, Yakuwa yagamba Musa nti: ‘Londa abasajja 12, omu omu okuva mu buli kika, obatume bagende bakette ensi ya Kanani gye ŋŋenda okuwa Abayisirayiri.’ Musa yalonda abasajja 12 n’abagamba nti: ‘Mugende mu Kanani mulabe obanga ensi eyo nnungi okulimiramu emmere. Era mulabe obanga abantu baamu banafu oba ba maanyi, era obanga babeera mu weema oba mu bibuga.’ Abakessi abo 12, omwali Yoswa ne Kalebu, baagenda okuketta Kanani.

Nga wayise ennaku 40, abakessi abo baakomawo nga baleese ebibala by’omutiini, enkomamawanga, n’ezzabbibu. Abakessi baagamba nti: ‘Ensi nnungi nnyo naye abantu baayo ba maanyi, era ebibuga byayo biriko bbugwe omuwanvu.’ Naye ye Kalebu yagamba nti: ‘Tusobola okuwangula abantu b’omu nsi eyo. Ka tugenderewo kati!’ Omanyi ensonga lwaki Kalebu yayogera ebigambo ebyo? Kubanga ye ne Yoswa baali beesiga Yakuwa. Naye abakessi abalala ekkumi baagamba nti: ‘Tetugenda! Abantu baayo banene nnyo era bawanvu nnyo! Twabadde ng’amayanzi mu maaso gaabwe.’

Abayisirayiri baggwaamu amaanyi. Beemulugunya era ne bagamba nti: ‘Tulonde omuntu atukulembere tuddeyo e Misiri. Lwaki tugenda mu nsi eyo batuttire eyo?’ Yoswa ne Kalebu baagamba abantu nti: ‘Temujeemera Yakuwa era temutya. Yakuwa ajja kutukuuma.’ Naye Abayisirayiri baagaana okuwuliriza. Baayagala n’okutta Yoswa ne Kalebu!

Kiki Yakuwa kye yakolawo? Yagamba Musa nti: ‘Abayisirayiri mbakoledde ebintu bingi, naye n’okutuusa kati bagaanye okuŋŋondera. N’olwekyo, bajja kubeera mu ddungu lino okumala emyaka 40, era mwe bajja okufiira. Abaana baabwe bokka awamu ne Yoswa ne Kalebu be bajja okuyingira mu nsi gye nnasuubiza okubawa.’

“Lwaki mutidde nnyo mmwe abalina okukkiriza okutono?”​—Matayo 8:26