Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 27

Baajeemera Yakuwa

Baajeemera Yakuwa

Bwe waali wayise ekiseera, Abayisirayiri nga bali mu ddungu, Koola, Dasani, Abiraamu, n’abantu abalala 250 baajeemera Musa. Baamugamba nti: ‘Tubeetamiddwa! Lwaki ggwe mukulembeze waffe ate Alooni n’aba nga ye kabona asinga obukulu? Ffenna Yakuwa ali naffe. Tali nammwe mmwekka, ggwe ne Alooni.’ Ekyo tekyasanyusa Yakuwa. Yakuwa yakitwala nti baali bajeemedde ye!

Musa yagamba Koola n’abawagizi be nti: ‘Enkya mujje ku weema entukuvu nga buli omu akutte ekyoterezo, ng’ataddeko obubaani. Yakuwa ajja kutulaga oyo gw’alonze.’

Enkeera, Koola n’abasajja be 250 baagenda okusisinkana Musa ku weema entukuvu. Nga bali eyo, baayotereza obubaani, ate nga tebaali bakabona. Yakuwa yagamba Musa ne Alooni nti: ‘Mweyawule ku Koola n’abasajja be.’

Wadde nga Koola yagenda okusisinkana Musa ku weema entukuvu, Dasani, Abiraamu, n’ab’omu maka gaabwe baagaana okugenda. Yakuwa yagamba Abayisirayiri okuva awaali weema ya Koola, eya Dasani, n’eya Abiraamu. Amangu ddala Abayisirayiri baava awaali weema ezo. Dasani, Abiraamu, n’ab’omu maka gaabwe baayimirira wabweru wa weema zaabwe. Waayita akaseera katono ettaka ne lyasama ne libamira bonna! Ate ku weema entukuvu, omuliro gwakka okuva mu ggulu ne gwokya Koola n’abasajja be 250.

Oluvannyuma Yakuwa yagamba Musa nti: ‘Ggya omuggo gumu gumu ku buli mwami w’ekika, era owandiike erinnya lya buli omu ku muggo ggwe. Naye ku muggo gw’ekika kya Leevi, wandiikako erinnya lya Alooni. Oluvannyuma emiggo egyo giteeke munda mu weema entukuvu, era omuggo gw’omusajja gwe nnaalonda gujja kumerako ebimuli.’

Ku lunaku olwaddako, Musa yaggya emiggo egyo mu weema entukuvu n’agiraga abaami b’ebika. Omuggo gwa Alooni gwali gumezeeko ebimuli era nga guliko ebibala by’omuloozi ebyengevu. Bwe kityo Yakuwa yakiraga nti ye yali alonze Alooni okuba kabona asinga obukulu.

“Muwulirenga abo ababakulembera era mubagonderenga.”​—Abebbulaniya 13:17