Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 30

Lakabu Yakweka Abakessi

Lakabu Yakweka Abakessi

Abakessi Abayisirayiri bwe baatuuka mu kibuga Yeriko, baayingira mu nnyumba y’omukazi ayitibwa Lakabu. Ekyo kabaka wa Yeriko yakitegeerako era n’atuma abasirikale okugenda ewa Lakabu. Lakabu yakweka abakessi abo ababiri waggulu ku nnyumba ate abasirikale ba kabaka n’abagamba okukwata ekkubo eddala. Yagamba abakessi nti: ‘Nja kubayamba kubanga nkimanyi nti Yakuwa ali ku ludda lwammwe era mujja kuwamba ensi eno. Naye munsuubize nti mujja kuwonyaawo ab’omu nju yange.’

Abakessi baagamba Lakabu nti: ‘Tewali n’omu ku b’omu nnyumba yo ajja kutuusibwako kabi.’ Era baamugamba nti: ‘Singa osiba omuguwa omumyufu ku ddirisa ly’ennyumba yo, ab’omu nnyumba yo tebajja kutuusibwako kabi konna.’

Lakabu yayisa abakessi mu ddirisa n’abassiza ku muguwa. Abakessi abo baasooka kugenda mu nsozi ne beekweka eyo okumala ennaku ssatu nga tebannaddayo eri Yoswa. Oluvannyuma Abayisirayiri baasomoka Omugga Yoludaani ne beeteekateeka okuwamba ensi eyo. Yeriko kye kibuga kye baasooka okuwamba. Yakuwa yabalagira okwetooloola ekibuga ekyo omulundi gumu buli lunaku okumala ennaku mukaaga. Ku lunaku olw’omusanvu, beetooloola ekibuga Yeriko emirundi musanvu. Oluvannyuma bakabona baafuuwa amakondeere, era abasirikale ne baleekaana nnyo. Amangu ago bbugwe w’ekibuga yagwa! Naye ennyumba ya Lakabu, eyali ku bbugwe w’ekibuga, yo teyagwa. Lakabu n’ab’omu nnyumba ye baawonawo olw’okuba Lakabu yeesiga Yakuwa.

“Ne Lakabu . . . teyayitibwa mutuukirivu olw’ebikolwa, oluvannyuma lw’okusembeza ababaka era n’abayisa mu kkubo eddala?”​—Yakobo 2:25