Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 32

Omukulembeze Omupya n’Abakazi Babiri Abazira

Omukulembeze Omupya n’Abakazi Babiri Abazira

Oluvannyuma lw’okukulembera abantu ba Yakuwa okumala emyaka mingi, Yoswa yafa nga wa myaka 110. Ekiseera kyonna Yoswa kye yamala nga mulamu, Abayisirayiri baasinzanga Yakuwa. Naye Yoswa bwe yamala okufa, baatandika okusinza ebifaananyi ng’Abakanani bwe baakolanga. Olw’okuba Abayisirayiri tebaanywerera ku Yakuwa, Yakuwa yaleka Yabini kabaka w’Abakanani okubanyigiriza. Abayisirayiri baakaabirira Yakuwa abayambe, era Yakuwa n’abawa omukulembeze omupya ayitibwa Balaka. Balaka yali agenda kuyamba abantu baddemu okusinza Yakuwa.

Nnabbi omukazi ayitibwa Debola yatumya Balaka ng’aliko obubaka okuva eri Yakuwa bwe yali ayagala okumutegeeza. Yamugamba nti: ‘Twala abasajja 10,000, mugende musisinkane Yabini ku kagga Kisoni. Eyo ogenda kuwangulirayo Sisera omukulu w’eggye lya Yabini.’ Balaka yagamba Debola nti: ‘Bw’onoogenda nange, nja kugenda.’ Debola yamuddamu nti: ‘Nja kugenda naawe. Naye kimanye nti si ggwe ajja okutta Sisera. Yakuwa agambye nti omukazi y’ajja okumutta.’

Debola yagenda ne Balaka awamu n’eggye lye ku Lusozi Taboli okweteekerateekera olutalo. Ekyo Sisera bwe yakimanya, yakuŋŋaanyiza eggye lye n’amagaali ge ag’olutalo wansi mu kiwonvu. Debola yagamba Balaka nti: ‘Olwa leero Yakuwa agenda kukuwa obuwanguzi.’ Balaka n’abasajja be 10,000 bakka okuva ku lusozi okusisinkana Sisera n’eggye lye ery’amaanyi.

Yakuwa yaleetera akagga Kisoni okujjula amazzi ne ganjaala. Amagaali ga Sisera ag’olutalo gaatubira mu bitosi. Sisera yava mu ggaali lye n’atandika okudduka. Balaka n’abasajja be baawangula eggye lya Sisera, naye Sisera yabaddukako! Sisera yadduka ne yeekweka mu weema y’omukazi ayitibwa Yayeeri. Yayeeri yawa Sisera amata oluvannyuma n’amubikka bulangiti. Olw’okuba Sisera yali akooye nnyo, yeebaka otulo otw’amaanyi. Yayeeri yagenda mpolampola ng’asooba n’amukomerera enninga ya weema mu mutwe n’amutta.

Balaka yajja ng’anoonya Sisera. Yayeeri yafuluma mu weema ye n’amugamba nti: ‘Yingira mu weema nkulage omusajja gw’onoonya.’ Balaka yayingira n’alaba Sisera ng’agalamidde awo afudde. Balaka ne Debola baayimbira Yakuwa oluyimba nga bamutendereza olw’okuyamba Abayisirayiri okuwangula abalabe baabwe. Emyaka 40 egyaddirira, Isirayiri yali mu mirembe.

“Abakazi abalangirira amawulire amalungi ggye ddene.”​—Zabbuli 68:11