Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 33

Luusi ne Nawomi

Luusi ne Nawomi

Enjala bwe yagwa mu Isirayiri, omukazi Omuyisirayiri ayitibwa Nawomi yagenda mu nsi ya Mowaabu ng’ali wamu n’omwami we ne batabani be ababiri. Nga wayise ekiseera, omwami wa Nawomi yafa. Batabani ba Nawomi baawasa abakazi Abamowaabu, Luusi ne Olupa. Naye eky’ennaku, oluvannyuma lw’ekiseera batabani ba Nawomi nabo baafa.

Nawomi bwe yawulira nti enjala yali eweddeyo mu Isirayiri, yasalawo okuddayo mu Isirayiri. Luusi ne Olupa baasalawo okugenda naye. Kyokka bwe baali mu kkubo nga bagenda, Nawomi yabagamba nti: ‘Mwayisa bulungi batabani bange, era nange mumpisizza bulungi. Njagala mmwembi muddemu okufumbirwa. Muddeeyo ewammwe mu Mowaabu.’ Luusi ne Olupa baamuddamu nti: ‘Tukwagala nnyo! Tetwagala kukuleka.’ Nawomi yeeyongera okubagamba okuddayo ewaabwe. N’ekyavaamu, Olupa yasalawo okuddayo, naye ye Luusi n’asigala ne Nawomi. Nawomi yagamba Luusi nti: ‘Olupa azzeeyo eri abantu be n’eri bakatonda be. Ddayo naye ogende ewammwe.’ Naye Luusi yamuddamu nti: ‘Sijja kukuleka. Abantu bo be bajja okuba abantu bange ne Katonda wo Katonda wange.’ Olowooza Nawomi yawulira atya nga Luusi amugambye ebigambo ebyo?

Luusi ne Nawomi baatuuka mu Isirayiri ng’amakungula ga ssayiri gatandika. Lumu Luusi yagenda okulonderera ssayiri mu nnimiro y’omusajja ayitibwa Bowaazi, mutabani wa Lakabu. Bowaazi yakimanyaako nti Luusi yali Mumowaabu era nti yali anyweredde ku Nawomi. Yalagira abakozi be okulekerawo Luusi ssayiri awerako ow’okulonderera.

Ku lunaku olwo akawungeezi, Nawomi yabuuza Luusi nti: ‘Okoze mu nnimiro y’ani leero?’ Luusi yamugamba nti: ‘Nkoze mu nnimiro y’omusajja ayitibwa Bowaazi.’ Nawomi yagamba Luusi nti: ‘Bowaazi y’omu ku b’eŋŋanda z’omwami wange. Weeyongere okukola mu nnimiro ye awamu n’abakazi abalala. Tojja kutuukibwako mutawaana gwonna.’

Luusi yeeyongera okukola mu nnimiro ya Bowaazi okutuusa ekiseera eky’amakungula lwe kyaggwaako. Bowaazi yakiraba nti Luusi yali mukozi nnyo era nga wa mpisa nnungi. Mu kiseera ekyo, omusajja bwe yafanga nga tazadde mwana mulenzi, omu ku b’eŋŋanda ze yawasanga mukazi we. Bwe kityo, Bowaazi yawasa Luusi. Bowaazi ne Luusi baazaala omwana ne bamutuuma Obedi, era omwana oyo yafuuka jjajja wa Kabaka Dawudi. Mikwano gya Nawomi baasanyuka nnyo omwana oyo ng’azaaliddwa. Baagamba Nawomi nti: ‘Yakuwa yasooka n’akuwa Luusi, omuwala abadde ow’omugaso ennyo gy’oli, ate kati akuwadde omuzzukulu. Yakuwa atenderezebwe.’

“Wabaawo ow’omukwano anywerera ku munne okusinga ow’oluganda.”​—Engero 18:2