Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 39

Kabaka wa Isirayiri Eyasooka

Kabaka wa Isirayiri Eyasooka

Yakuwa yali awadde Abayisirayiri abalamuzi okubakulembera, naye bo baali baagala kabaka. Baagamba Samwiri nti: ‘Amawanga gonna agatwetoolodde galina bakabaka. Naffe twagala kabaka.’ Ekyo tekyasanyusa Samwiri era yategeeza Yakuwa ensonga eyo. Yakuwa yagamba Samwiri nti: ‘Abantu si ggwe gwe bagaanye okubakulembera. Bagaanye nze. Bagambe nti bajja kufuna kabaka, naye kabaka oyo ajja kubasaba ebintu bingi.’ Kyokka abantu baagamba Samwiri nti: ‘Ffe tetufaayo. Twagala kabaka!’

Yakuwa yagamba Samwiri nti omusajja ayitibwa Sawulo ye yali agenda okubeera kabaka wa Isirayiri asooka. Sawulo bwe yagenda ewa Samwiri e Laama, Samwiri yafuka amafuta ku mutwe gwa Sawulo okuba kabaka.

Oluvannyuma Samwiri yakuŋŋaanya Abayisirayiri okubalaga kabaka waabwe omupya. Naye bamunoonya nga tebamulaba. Omanyi lwaki? Sawulo yali yeekwese mu migugu. Bwe baamuzuula, baamuleeta ne bamuyimiriza wakati mu bantu. Sawulo yali muwanvu okusinga abantu bonna, era yali alabika bulungi nnyo. Samwiri yagamba abantu nti: ‘Mulabe oyo Katonda gw’alonze.’ Abantu baaleekaana ne bagamba nti: ‘Kabaka awangaale!’

Mu kusooka Kabaka Sawulo yawulirizanga Samwiri era ng’agondera Yakuwa. Naye oluvannyuma lw’ekiseera yakyuka. Ng’ekyokulabirako, kabaka yali talina kuwaayo ssaddaaka. Lumu Samwiri yagamba Sawulo amulindeko okutuusa lwe yandizze, naye Samwiri n’alwawo okutuuka. Bwe kityo Sawulo yasalawo okuwaayo ssaddaaka. Kiki Samwiri kye yakola? Yagamba Sawulo nti: ‘Okoze kya busirusiru okujeemera Yakuwa.’ Ekyo kirina kye kyayigiriza Sawulo?

Nga wayise ekiseera, Sawulo yagenda okulwanyisa Abamaleki, era Samwiri n’amugamba nti atte Abamaleki bonna obutalekaawo muntu n’omu. Naye Sawulo yasalawo okuwonyaawo kabaka waabwe eyali ayitibwa Agagi. Yakuwa yagamba Samwiri nti: ‘Sawulo anvuddeko, era taŋŋondera.’ Ekyo kyanakuwaza nnyo Samwiri era n’agamba Sawulo nti: ‘Olw’okuba olekedde awo okugondera Yakuwa, Yakuwa agenda kulonda kabaka omulala.’ Samwiri bwe yali akyuka okugenda, Sawulo yakwata ekirenge ky’olugoye lwe, ne luyulika. Samwiri yagamba Sawulo nti: ‘Yakuwa akuggyeeko obwakabaka.’ Obwakabaka obwo Yakuwa yali agenda kubuwa omuntu omulala eyali amwagala era eyali ajja okumugondera.

“Okuba omuwulize kisinga ssaddaaka.”​—1 Samwiri 15:22