Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 40

Dawudi ne Goliyaasi

Dawudi ne Goliyaasi

Yakuwa yagamba Samwiri nti: ‘Genda ewa Yese. Omu ku batabani be y’ajja okuba kabaka wa Isirayiri addako.’ Bw’atyo Samwiri yagenda ewa Yese. Samwiri bwe yalaba mutabani wa Yese asinga obukulu, yagamba mu mutima gwe nti: ‘Omuvubuka ono ateekwa okuba nga Yakuwa gw’alonze.’ Naye Yakuwa yagamba Samwiri nti oyo si gwe yali alonze. Yakuwa yagamba nti: ‘Nze ntunuulira ekiri mu mutima gw’omuntu, so si ndabika ye.’

Yese yaleeta batabani be abalala mukaaga eri Samwiri. Naye Samwiri yamugamba nti: ‘Tewali n’omu ku bo Yakuwa gw’alonze. Olinayo batabani bo abalala?’ Yese yamuddamu nti: ‘Nninayo mutabani wange omulala omu asembayo obuto, ayitibwa Dawudi. Ali ku ttale alunda ndiga.’ Dawudi bwe yajja, Yakuwa yagamba Samwiri nti: ‘Oyo gwe nnonze!’ Samwiri yafuka amafuta ku mutwe gwa Dawudi okuba kabaka wa Isirayiri anaddako.

Nga wayise ekiseera, waabalukawo olutalo wakati w’Abayisirayiri n’Abafirisuuti. Abafirisuuti baalina omulwanyi ow’amaanyi ayitibwa Goliyaasi, eyali omuwanvu ennyo era nga munene nnyo. Buli lunaku Goliyaasi yasoomoozanga Abayisirayiri. Yabagambanga nti: ‘Musindike omusajja alwane nange. Bw’ampangula, tujja kubeera baddu bammwe. Naye bwe mmuwangula, mujja kubeera baddu baffe.’

Dawudi yagenda mu lusiisira lw’eggye lya Isirayiri okutwalira baganda be emmere. Bwe yali eyo, yawulira ebyo Goliyaasi bye yali ayogera, n’agamba nti: ‘Nze nja kulwanyisa omusajja oyo!’ Kabaka Sawulo yagamba Dawudi nti: ‘Naye okyali muto nnyo.’ Dawudi yaddamu nti: ‘Yakuwa ajja kunnyamba.’

Sawulo yawa Dawudi ebyambalo bye eby’olutalo, naye Dawudi n’amugamba nti: ‘Sisobola kulwanira mu byambalo bino.’ Dawudi yakwata envuumuulo ye n’agenda ku kagga n’alonda amayinja ataano n’agateeka mu kasawo ke. Oluvannyuma Dawudi yadduka ng’agenda eri Goliyaasi. Goliyaasi yagamba Dawudi nti: ‘Jjangu wano kalenzi ggwe. Omulambo gwo nja kugugabira ebinyonyi n’ensolo ez’omu nsiko.’ Naye Dawudi teyatya. Dawudi yaddamu Goliyaasi nti: ‘Ojja gye ndi n’ekitala n’effumu, naye nze nzija gy’oli mu linnya lya Yakuwa. Tolwanyisa ffe wabula olwanyisa Katonda. Buli muntu ali wano ajja kukiraba nti Yakuwa wa maanyi nnyo okusinga ekitala n’effumu. Mmwenna Yakuwa ajja kubawaayo mu mukono gwaffe.’

Dawudi yateeka ejjinja mu nvuumuulo ye n’agivuumuula n’amaanyi ge gonna. Yakuwa yayamba Dawudi, ejjinja eryo ne likuba Goliyaasi mu kyenyi ne limuyingira. Goliyaasi yagwa wansi n’afa, Abafirisuuti ne badduka. Naawe weesiga Yakuwa nga Dawudi bwe yakola?

“Eri abantu tekisoboka, naye eri Katonda ebintu byonna bisoboka.”​—Makko 10:27