Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 41

Dawudi ne Sawulo

Dawudi ne Sawulo

Oluvannyuma lwa Dawudi okutta Goliyaasi, Kabaka Sawulo yamulonda okukulira eggye lye. Dawudi yawangula entalo nnyingi era n’amanyibwa nnyo. Buli Dawudi lwe yakomangawo ng’ava okulwana, abakazi bajjanga nga bazina era nga bayimba nti: ‘Sawulo asse nkumi na nkumi, ate Dawudi asse mitwalo na mitwalo!’ Sawulo yakwatirwa Dawudi obuggya n’ayagala okumutta.

Dawudi yali amanyi bulungi okukuba entongooli. Lumu Dawudi bwe yali akubira Kabaka Sawulo entongooli, Sawulo yamukasukira effumu. Dawudi yalyewoma ne likwasa ekisenge. Sawulo yagezaako emirundi emirala mingi okutta Dawudi. N’ekyavaamu, Dawudi yadduka n’agenda ne yeekweka mu ddungu.

Sawulo yatwala abasirikale 3,000 okunoonya Dawudi. Sawulo yayingira mu mpuku Dawudi n’abasajja be mwe baali beekwese. Abasajja ba Dawudi baamugamba mu kaama nti: ‘Kano ke kakisa k’ofunye okutta Sawulo.’ Dawudi yasooba n’agenda awaali Sawulo n’asala ekitundu ku lugoye lwe. Ekyo Sawulo teyakimanya. Oluvannyuma Dawudi yawulira bubi olw’okuba yali tawadde kitiibwa kabaka Yakuwa gwe yali yafukako amafuta. Dawudi teyakkiriza basajja be kukola kabi ku Sawulo. Dawudi yakoowoola Sawulo n’amugamba nti yali afunye akakisa okumutta naye n’atamutta. Ekyo kyayamba Sawulo okukyusa endowooza ye ku Dawudi?

Nedda. Sawulo yeeyongera okunoonya Dawudi okumutta. Lumu ekiro, Dawudi ne Abisaayi, omwana wa mwannyina, baagenda mu kifo Sawulo we yali asiisidde ne bamusanga nga yeebase. Abuneeri omukuumi wa Sawulo naye yali yeebase. Abisaayi yagamba Dawudi nti: ‘Kano ke kakisa ke tufunye okutta Sawulo! Ka mmufumite mmutte.’ Dawudi yamuddamu nti: ‘Muleke, Yakuwa kennyini y’amanyi ky’ajja okumukola. Ka tutwale effumu lye n’ensumbi ye ey’amazzi tugende.’

Dawudi yagenda emitala n’ayimirira waggulu ku lusozi we yali alengerera Sawulo n’abasajja be. Dawudi yayogerera waggulu n’agamba nti: ‘Abuneeri, lwaki tewakuumye mukama wo kabaka? Ensumbi ya Sawulo ey’amazzi n’effumu lye biruwa?’ Sawulo yakitegeera nti Dawudi ye yali ayogera, era n’agamba Dawudi nti: ‘Obadde osobola okunzita, naye tonzise. Nkimanyi nti ggwe ogenda okuba kabaka wa Isirayiri anaddako.’ Oluvannyuma, Sawulo yaddayo ewuwe. Kyokka tekiri nti ab’omu nnyumba ya Sawulo bonna baali tebaagala Dawudi.

“Mukolenga kyonna kye musobola okuba mu mirembe n’abantu bonna. Abaagalwa, temuwooleranga ggwanga, naye muleke Katonda y’aba ayoleka obusungu bwe.”​—Abaruumi 12:18, 19