Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 42

Yonasaani Yali Muvumu era nga Mwesigwa

Yonasaani Yali Muvumu era nga Mwesigwa

Yonasaani, mutabani wa Kabaka Sawulo eyali asingayo obukulu, yali mulwanyi muzira. Dawudi yagamba nti Yonasaani yali adduka okusinga empungu era nga wa maanyi okusinga empologoma. Lumu Yonasaani yalaba abasirikale Abafirisuuti 20 ku lusozi. Yagamba oyo eyali amusitulira eby’okulwanyisa nti: ‘Tujja kubalumba Yakuwa bw’anaatuwa akabonero. Abafirisuuti bwe banaatugamba okwambuka, olwo tujja kubalumba.’ Abafirisuuti baayogera mu ddoboozi ery’omwanguka ne bagamba nti: ‘Mujje tulwane!’ Bwe kityo, Yonasaani n’eyamusituliranga eby’okulwanyisa baayambuka olusozi ne balwanyisa Abafirisuuti ne babawangula.

Okuva bwe kiri nti Yonasaani ye yali mutabani wa Sawulo omukulu, Yonasaani ye yandisikidde kitaawe ku bwakabaka. Naye Yonasaani bwe yakimanya nti Yakuwa yali alonze Dawudi okuba kabaka wa Isirayiri anaddako, ekyo tekyamukwasa buggya. Yonasaani ne Dawudi baafuuka ba mukwano nnyo. Buli omu yasuubiza okuwagira munne. Yonasaani yawa Dawudi ekizibaawo kye, ekitala kye, omutego gwe, n’omusipi gwe, okuba akabonero akalaga omukwano ogw’amaanyi gwe baalina.

Dawudi bwe yali adduka Sawulo, Yonasaani yagenda gy’ali n’amugamba nti: ‘Beera mugumu, era totya. Yakuwa akulonze okuba kabaka. Ne kitange kennyini ekyo akimanyi.’ Naawe tewandyagadde kuba na wa mukwano alinga Yonasaani?

Omulundi ogusukka mu gumu, Yonasaani yateeka obulamu bwe mu kabi okusobola okuyamba mukwano gwe Dawudi. Yonasaani yali akimanyi nti Kabaka Sawulo yali ayagala kutta Dawudi, bwe kityo yagamba Sawulo nti: ‘Bw’otta Dawudi ojja kuba okoze ekintu ekibi ennyo; Dawudi talina kikyamu kyonna kye yakukola.’ Sawulo yanyiigira nnyo Yonasaani. Nga wayiseewo emyaka, Sawulo ne Yonasaani baafiira mu lutalo.

Yonasaani bwe yamala okufa, Dawudi yanoonya mutabani wa Yonasaani ayitibwa Mefibosesi. Dawudi bwe yamuzuula, yamugamba nti: ‘Olw’okuba taata wo yali mukwano gwange nnyo, nja kukulabirira obulamu bwo bwonna. Ojja kubeeranga mu lubiri lwange era ojja kuliiranga ku mmeeza yange.’ Dawudi teyeerabira mukwano gwe Yonasaani.

“Mwagalanenga nga nange bwe mbaagadde. Tewali alina kwagala kusinga kw’oyo awaayo obulamu bwe ku lwa mikwano gye.”​—Yokaana 15:12, 13