Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 44

Yeekaalu ya Yakuwa

Yeekaalu ya Yakuwa

Sulemaani bwe yafuuka kabaka wa Isirayiri, Yakuwa yamubuuza nti: ‘Kiki ky’oyagala nkuwe?’ Sulemaani yagamba Yakuwa nti: ‘Ndi mwana muto, era sirina bumanyirivu. Nkusaba ompe amagezi nsobole okulabirira obulungi abantu bo.’ Yakuwa yamuddamu nti: ‘Olw’okuba onsabye amagezi, nja kukufuula omusajja asingayo okuba ow’amagezi mu nsi, era nja kukuwa eby’obugagga bingi. Ate era bw’onoŋŋondera, ojja kuwangaala nnyo.’

Sulemaani yatandika okuzimba yeekaalu. Yakozesa zzaabu, ffeeza, embaawo, n’amayinja ebisingayo obulungi. Yakozesa abasajja n’abakazi bangi abaalina obumanyirivu okukola omulimu ogwo. Nga wayise emyaka musanvu, yeekaalu yaggwa okuzimbibwa era ne bateekateeka okugiwaayo eri Yakuwa. Yeekaalu yaliko ekyoto, era ku kyoto ekyo baateekako ebiweebwayo. Sulemaani yafukamira mu maaso g’ekyoto n’asaba ng’agamba nti: ‘Ai Yakuwa, yeekaalu eno togigyaamu era n’ekitiibwa kyayo tekikugyaamu, naye kkiriza okusinza kwaffe era owulire essaala zaffe.’ Yakuwa yatwala atya yeekaalu Sulemaani gye yazimba n’essaala gye yasaba? Sulemaani bwe yamala okusaba, omuliro gwava mu ggulu ne gwokya ebiweebwayo ebyali ku kyoto. Yakuwa yakkiriza yeekaalu Sulemaani gye yazimba. Ekyo Abayisirayiri bwe baakiraba, baasanyuka nnyo.

Kabaka Sulemaani yali mugezi nnyo, era ekyo kyali kimanyiddwa mu Isirayiri yonna ne mu bitundu eby’ewala. Abantu bajjanga eri Sulemaani abawe amagezi ku ngeri y’okugonjoolamu ebizibu byabwe. Ne kabaka omukazi ow’e Seba yajja eri Sulemaani amugezese ng’amubuuza ebibuuzo ebizibu. Kabaka oyo omukazi bwe yawulira ebyo Sulemaani bye yaddamu, yagamba nti: ‘Nnali sikkiriza ebyo abantu bye baali bakwogerako, naye kati nkitegedde nti oli mugezi nnyo n’okusinga bwe baali bagamba. Katonda wo, Yakuwa, akuwadde emikisa mingi.’ Abantu mu ggwanga lya Isirayiri lyonna baali bulungi era nga basanyufu. Naye ebintu byali binaatera okukyuka.

“Laba! oyo asinga Sulemaani ali wano.”​—Matayo 12:42