Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 45

Obwakabaka Bwawulwamu

Obwakabaka Bwawulwamu

Ekiseera kyonna Sulemaani kye yamala ng’asinza Yakuwa, eggwanga lya Isirayiri lyali mu mirembe. Naye ekiseera kyatuuka Sulemaani n’awasa abakazi bangi okuva mu mawanga amalala, ate ng’abakazi abo baali basinza ebifaananyi. Mpolampola Sulemaani yagenda akyuka naye n’atandika okusinza ebifaananyi. Ekyo kyanyiiza nnyo Yakuwa. Yakuwa yagamba Sulemaani nti: ‘Abantu b’omu lunyiriri lwo bagenda kuggibwako obwakabaka bwa Isirayiri, bwawulwemu ebitundu bibiri. Ekitundu ekisinga obunene ŋŋenda kukiwa omu ku baweereza bo, era abantu b’omu lunyiriri lwo bajja kufuga ekitundu ekisinga obutono.’

Yakuwa yeeyongera okulaga Sulemaani ekyo kye yali asazeewo. Lumu omu ku baweereza ba Sulemaani ayitibwa Yerobowaamu bwe yali atambula, yasisinkana nnabbi ayitibwa Akiya. Akiya yayuzaamu ekyambalo kye ebitundu 12 n’agamba Yerobowaamu nti: ‘Yakuwa agenda kuggya obwakabaka ku Sulemaani abugabanyeemu ebitundu bibiri. Twala ebitundu bino ekkumi eby’olugoye lwange kubanga ogenda kuba kabaka w’ebika kkumi.’ Ekyo Kabaka Sulemaani bwe yakiwulira yayagala okutta Yerobowaamu! Yerobowaamu yadduka n’agenda mu Misiri. Nga wayiseewo ekiseera, Sulemaani yafa era mutabani we Lekobowaamu yafuuka kabaka. Awo Yerobowaamu yakiraba nti yali asobola okuddayo mu Isirayiri.

Abakadde b’omu Isirayiri baagamba Lekobowaamu nti: ‘Abantu bw’obayisa obulungi bajja kukunywererako.’ Naye mikwano gya Lekobowaamu abaali abavubuka baamugamba nti: ‘Abantu olina kubakwata na bukambwe! Bakozese emirimu egy’amaanyi ennyo!’ Lekobowaamu yakolera ku magezi ga mikwano gye abavubuka. Yayisa bubi abantu era ne bamujeemera. Baalonda Yerobowaamu okuba kabaka w’ebika ekkumi ebya Isirayiri, ebyamanyibwa ng’obwakabaka bwa Isirayiri. Ebika ebirala ebibiri byanywerera ku Lekobowaamu era byamanyibwa nga obwakabaka bwa Yuda. Kati ebika 12 ebya Isirayiri byali byeyawuddemu ebitundu bibiri.

Yerobowaamu yali tayagala bantu ba mu bwakabaka bwe kugenda kusinziza mu Yerusaalemi, kubanga Yerusaalemi yali mu bwakabaka bwa Lekobowaamu. Omanyi ensonga lwaki? Yerobowaamu yatya nti abantu bajja kumuvaako batandike okuwagira Lekobowaamu. Bwe kityo, Yerobowaamu yakola ennyana bbiri eza zzaabu n’agamba abantu be nti: ‘Yerusaalemi kiri wala. Musinzize wano.’ Abantu baatandika okusinza ennyana eza zzaabu era ne beerabira Yakuwa.

“Temwegattanga wamu na batali bakkiriza. Obutuukirivu n’obujeemu bissa bitya ekimu? . . . Oba omukkiriza atabagana atya n’atali mukkiriza?”​—2 Abakkolinso 6:14, 15