Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 48

Omwana wa Nnamwandu Yaddamu Okuba Omulamu

Omwana wa Nnamwandu Yaddamu Okuba Omulamu

Mu kiseera ky’ekyeya, Yakuwa yagamba Eriya nti: ‘Genda e Zalefaasi. Eyo waliyo nnamwandu ajja okukuwa emmere.’ Eriya bwe yatuuka ku mulyango oguyingira mu kibuga, yalaba nnamwandu omwavu ng’alonderera obuku. Eriya yasaba nnamwandu oyo amuleetere ku mazzi anyweko. Nnamwandu bwe yali agenda okugamuleetera, Eriya yamuyita n’amugamba nti: ‘Nkwegayiridde ndeeteraayo n’akagaati.’ Naye nnamwandu yamugamba nti: ‘Sirina kagaati ka kukuwa. Nninawo obuwunga butono n’otufuta tutono era ŋŋenda kufumba akamere nze n’omwana wange tukalye.’ Eriya yamugamba nti: ‘Yakuwa agambye nti singa onfumbira akagaati, obuwunga bwo n’amafuta go tebijja kuggwaawo okutuusa ng’enkuba ezzeemu okutonnya.’

Nnamwandu yagenda n’afumbira nnabbi wa Yakuwa omugaati. Nga Yakuwa bwe yali agambye, nnamwandu ne mutabani we baalina emmere mu kiseera kyonna eky’ekyeya. Ensumbi ye ennene teyaggwaamu buwunga n’akasumbi ke akatono tekaggwaamu mafuta.

Naye waliwo ekintu ekibi ekyaliwo. Mutabani wa nnamwandu yalwala nnyo n’afa. Nnamwandu yeegayirira Eriya amuyambe. Eriya yaggya ku nnamwandu omwana oyo eyali afudde n’amwambusa mu kisenge ekya waggulu mu nnyumba ya nnamwandu. Eriya yagalamiza omwana oyo ku kitanda n’asaba ng’agamba nti: ‘Ai Yakuwa, nkwegayiridde omwana k’addemu obulamu.’ Omanyi ensonga lwaki ekyo Eriya kye yasaba Yakuwa okukola kyali kyewuunyisa nnyo? Kyali kyewuunyisa kubanga waali tewabangawo muntu yenna azuukira. Okugatta ku ekyo, nnamwandu oyo ne mutabani we tebaali Bayisirayiri.

Omwana oyo yaddamu obulamu era n’atandika okussa! Eriya yagamba nnamwandu nti: ‘Laba! Omwana wo mulamu.’ Nnamwandu yasanyuka nnyo n’agamba Eriya nti: ‘Kati nkimanyi nti ddala oli musajja wa Katonda, kubanga oyogera ebyo byokka Yakuwa by’aba akugambye okwogera.’

“Mutunuulire nnamuŋŋoona: tezisiga, tezikungula, era tezirina ggwanika, kyokka Katonda aziriisa. Mmwe temuli ba muwendo nnyo okusinga ebinyonyi?”​—Lukka 12:24