Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 50

Yakuwa Alwanirira Yekosafaati

Yakuwa Alwanirira Yekosafaati

Yekosafaati kabaka wa Yuda yasaanyaawo ebyoto bya Bbaali mu Yuda, era yayagala nnyo okuyamba abantu okumanya amateeka ga Yakuwa. Bwe kityo, yatuma abaami be n’Abaleevi okugenda mu bitundu bya Buyudaaya byonna okuyigiriza abantu amateeka ga Yakuwa.

Amawanga agaali geetoolodde Yuda gaatya okugirumba kubanga gaali gamanyi nti Yakuwa ali wamu n’abantu be. Era gaaweereza Kabaka Yekosafaati ebirabo. Naye Abamowaabu, Abaamoni, n’abantu abaali babeera mu kitundu ky’e Seyiri bajja okulwanyisa Yuda. Yekosafaati yakiraba nti yali yeetaaga obuyambi bwa Yakuwa. Yekosafaati yakuŋŋaanyiza mu Yerusaalemi abasajja, abakazi, n’abaana bonna. Era yasabira mu maaso gaabwe n’agamba nti: ‘Yakuwa, bw’ototuyamba, tetusobola kuwangula. Tukwegayiridde tubuulire eky’okukola.’

Yakuwa yaddamu essaala eyo n’agamba nti: ‘Temutya. Nja kubayamba. Mubeere mu bifo byammwe, muyimirire butengerera, mulabe bwe mbalokola.’ Yakuwa yabalokola atya?

Enkeera, Yekosafaati yalonda abayimbi n’abagamba bakulemberemu abasirikale be. Baatambula okuva e Yerusaalemi okutuuka mu ddwaniro e Tekowa.

Abayimbi bwe baali bayimba nga batendereza Yakuwa mu ddoboozi ery’omwanguka, Yakuwa yalwanirira abantu be. Yakuwa yatabulatabula Abaamoni n’Abamowaabu ne batandika okuttiŋŋana bokka na bokka, era tewali n’omu ku bo yawonawo. Kyokka yakuuma abantu ba Yuda, abasirikale, ne bakabona. Amawanga gonna agaali geetoolodde Yuda gaawulira ekyo Yakuwa kye yakola ne gakimanya nti Yakuwa yali akyalwanirira abantu be. Ekyo kituyigiriza ki? Yakuwa anunula abantu be mu ngeri nnyingi, era bw’aba abanunula teyeetaaga buyambi bwa bantu.

“Tekijja kubeetaagisa kulwana lutalo luno. Mubeere mu bifo byammwe; muyimirire butengerera mulabe Yakuwa bw’abalokola.”​—2 Ebyomumirembe 20:17