Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 53

Yekoyaada Yayoleka Obuvumu

Yekoyaada Yayoleka Obuvumu

Yezebeeri yalina muwala we ayitibwa Asaliya, eyali omubi ennyo nga maama we Yezebeeri. Asaliya yali mukyala wa kabaka wa Yuda. Omwami wa Asaliya bwe yafa, mutabani wa Asaliya yatandika okufuga nga kabaka. Naye mutabani we oyo bwe yafa, Asaliya yeefuula kabaka wa Yuda. Era yagezaako okusaanyaawo abo bonna abaali mu lunyiriri omwavanga bakabaka ba Yuda. Yali ayagala okumalawo abo bonna abaali basobola okumuggya ku bwakabaka, nga mw’otwalidde ne bazzukulu be. Abantu bonna baali batya nnyo Asaliya.

Yekoyaada kabona asinga obukulu ne mukyala we Yekoseba, baali bakimanyi nti ekyo Asaliya kye yali akola kyali kibi nnyo. Baateeka obulamu bwabwe mu kabi ne bakweka omu ku bazzukulu ba Asaliya eyali ayitibwa Yekowaasi, era ne bamukuliza mu yeekaalu.

Yekowaasi bwe yaweza emyaka musanvu, Yekoyaada yakuŋŋaanya abakulu b’ennyumba n’Abaleevi n’abagamba nti: ‘Mukuume enzigi za yeekaalu era temukkiriza muntu yenna kuyingira.’ Oluvannyuma Yekoyaada yassa engule ku mutwe gwa Yekowaasi n’amufuula kabaka wa Yuda. Abantu b’omu Yuda baaleekaanira waggulu nga bagamba nti: ‘Kabaka awangaale!’

Nnaabakyala Asaliya bwe yawulira abantu nga bajaganya, yadduka n’agenda ku yeekaalu. Bwe yalaba kabaka omupya, yaleekaana n’agamba nti: “Luno lukwe! Luno lukwe!” Abakulu b’ebikumi baakwata Asaliya ne bamutwala ne bamutta. Olwo ate abantu b’omu ggwanga eryo Asaliya be yali aleetedde okukola ebintu ebibi?

Yekoyaada yayamba abantu mu ggwanga lya Yuda okukola endagaano ne Yakuwa ne basuubiza okusinza Yakuwa yekka. Yekoyaada yalagira abantu okumenya yeekaalu ya Bbaali n’okusaanyaawo ebifaananyi. Yalonda bakabona n’Abaleevi okuweereza ku yeekaalu, abantu basobole okuddamu okusinzizaayo Yakuwa. Yalonda abakuumi okukuuma emiryango gya yeekaalu, abantu abataali balongoofu baleme okuyingiramu. Oluvannyuma Yekoyaada n’abakulu b’ebikumi baatwala Yekowaasi mu lubiri ne bamutuuza ku ntebe y’obwakabaka. Abantu b’omu Yuda baasanyuka nnyo. Kati baali basobola okusinza obulungi Yakuwa kubanga omukazi omubi Asaliya yali takyaliwo era nga n’okusinza kwa Bbaali tekukyaliwo. Tewali kubuusabuusa nti obuvumu Yekoyaada bwe yayoleka bwaviiramu abantu bangi emikisa.

“Temutyanga abo abatta omubiri naye nga tebasobola kuzikiriza bulamu; wabula mutye oyo asobola okuzikiriza byombi obulamu n’omubiri mu Ggeyeena.”​—Matayo 10:28