Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 57

Yakuwa Atuma Yeremiya Okubuulira

Yakuwa Atuma Yeremiya Okubuulira

Yakuwa yalonda Yeremiya okuweereza nga nnabbi mu Yuda. Yamugamba okubuulira abantu era abalabule balekere awo okukola ebintu ebibi. Yeremiya yagamba nti: ‘Yakuwa, ndi mwana muto. Sijja kusobola kwogera eri abantu.’ Yakuwa yagamba Yeremiya nti: ‘Totya. Nja kukubuulira eky’okwogera. Nja kukuyamba.’

Yakuwa yagamba Yeremiya akuŋŋaanye abakadde b’abantu, akwate ekibya akyasize mu maaso gaabwe, era agambe nti: ‘Yerusaalemi bwe kityo bwe kijja okwasaayasibwa.’ Yeremiya bwe yakola Yakuwa kye yamugamba, abakadde baanyiiga nnyo. Kabona ayitibwa Pasukuli yakuba Yeremiya era n’amuteeka mu nvuba. Ekiro kyonna Yeremiya yali tasobola kwekyusa. Enkeera Pasukuli yaggya Yeremiya mu nvuba. Yeremiya yagamba nti: ‘Kino sikyasobola kukigumira. Sijja kuddamu kubuulira.’ Naye ddala Yeremiya yalekera awo okubuulira? Nedda. Yeremiya bwe yeeyongera okukirowoozaako ennyo, yagamba nti: ‘Obubaka bwa Yakuwa bulinga omuliro ogubuubuuka munda mu nze. Sisobola kulekera awo kubuulira.’ Yeremiya yeeyongera okulabula abantu.

Nga wayiseewo emyaka, waddawo kabaka omupya mu Yuda. Bakabona ne bannabbi ab’obulimba baali tebaagala ebyo Yeremiya bye yali abuulira. Baagamba abaami b’omu Yuda nti: ‘Omusajja ono agwanidde okuttibwa.’ Yeremiya yagamba nti: ‘Bwe munzita, mujja kuba munzitidde bwereere. Ebigambo bye njogera si byange, bya Yakuwa.’ Abaami bwe baawulira ebigambo ebyo, baagamba nti: ‘Omusajja ono tagwana kuttibwa.’

Yeremiya yeeyongera okubuulira, era ekyo kyanyiiza nnyo abaami. Abaami baasaba kabaka atte Yeremiya. Kabaka yabagamba nti baali basobola okukola Yeremiya kyonna kye baagala. Bwe kityo, baakwata Yeremiya ne bamusuula mu luzzi olwalimu ebitosi, nga balowooza nti ajja kufiira omwo. Yeremiya yatubira mu bitosi.

Omusajja eyali ayitibwa Ebedumereki eyali akola mu lubiri yagamba kabaka nti: ‘Abaami basudde Yeremiya mu luzzi! Bwe tumulekayo, ajja kufa.’ Kabaka yagamba Ebedumereki afune abasajja 30 agende nabo baggye Yeremiya mu luzzi. Olowooza naffe tetusaanidde kuba nga Yeremiya atakkiriza kintu kyonna kumuleetera kulekera awo kubuulira?

“Mulikyayibwa abantu bonna olw’erinnya lyange, naye oyo agumiikiriza okutuuka ku nkomerero y’alirokolebwa.”​—Matayo 10:22