Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 58

Yerusaalemi Kizikirizibwa

Yerusaalemi Kizikirizibwa

Emirundi mingi abantu b’omu Yuda baavanga ku Yakuwa ne basinza bakatonda ab’obulimba. Okumala emyaka mingi, Yakuwa yagezaako okubayamba. Yabasindikiranga bannabbi okubalabula, naye tebaawuliriza. Mu kifo ky’ekyo, baajereganga bannabbi abo. Kiki Yakuwa kye yakolawo okumalawo okusinza okw’obulimba?

Mu kiseera ekyo, Nebukadduneeza kabaka wa Babulooni yali agenda awamba amawanga ag’enjawulo. Ku mulundi Nebukadduneeza gwe yasooka okulumba Yerusaalemi, yakwata Kabaka Yekoyakini, abaami be, abasajja be abalwanyi, n’abakozi be abaakolanga emirimu gy’emikono, n’abatwala e Babulooni. Era yatwala ebintu eby’omuwendo ebyali mu yeekaalu ya Yakuwa. Oluvannyuma Nebukadduneeza yafuula Zeddeekiya kabaka wa Yuda.

Mu kusooka, Zeddeekiya yagondera Nebukadduneeza. Naye oluvannyuma abantu b’omu mawanga agaali geetoolodde Yuda ne bannabbi ab’obulimba baagamba Zeddeekiya okujeemera Babulooni. Yeremiya yalabula Zeddeekiya nti: ‘Bw’onoojeemera Abababulooni, ggwe n’abantu bo mujja kuttibwa, era wajja kubaawo enjala n’endwadde mu nsi ya Yuda.’

Bwe waali wayise emyaka munaana nga Zeddeekiya afuga nga kabaka, Zeddeekiya yasalawo okujeemera Babulooni era n’asaba eggye lya Misiri okumuyamba. Nebukadduneeza yasindika eggye lye okulumba ekibuga Yerusaalemi, era ne likizingiza. Yeremiya yagamba Zeddeekiya nti: ‘Yakuwa agambye nti bwe weewaayo mu mikono gy’Abababulooni, ojja kuwonawo era n’ekibuga Yerusaalemi tekijja kuzikirizibwa. Naye ekyo bw’otokikola, Abababulooni bajja kwokya ekibuga Yerusaalemi era bakutwale mu buwambe.’ Zeddeekiya yagamba nti: ‘Sijja kwewaayo mu mikono gy’Abababulooni!’

Nga wayise omwaka gumu n’ekitundu, Abababulooni baabomola bbugwe wa Yerusaalemi era ne bookya ekibuga ekyo. Baayokya yeekaalu, batta abantu bangi, era ne batwala abantu bangi mu buwambe.

Zeddeekiya yadduka okuva mu Yerusaalemi, naye Abababulooni ne bamuwondera. Baamukwatira okumpi ne Yeriko ne bamutwala eri Nebukadduneeza. Kabaka wa Babulooni yaleeta abaana ba Zeddeekiya n’abatta nga Zeddeekiya alaba. Oluvannyuma Nebukadduneeza yaggyamu Zeddeekiya amaaso n’amusiba mu kkomera, era eyo Zeddeekiya gye yafiira. Naye Yakuwa yasuubiza abantu b’omu Yuda nti: ‘Oluvannyuma lw’emyaka 70, nja kubakomyawo e Yerusaalemi.’

Kiki ekyandituuse ku bavubuka abaawambibwa ne batwalibwa e Babulooni? Bandisigadde nga beesigwa eri Yakuwa?

“Yakuwa Katonda, Omuyinza w’Ebintu Byonna, emisango gy’osala gya mazima era gya butuukirivu.”​—Okubikkulirwa 16:7