Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 61

Tebaavunnamira Kifaananyi

Tebaavunnamira Kifaananyi

Nga wayiseewo ekiseera bukya Kabaka Nebukadduneeza aloota ekirooto ekikwata ku kibumbe ekinene, yakola ekifaananyi ekinene ekya zzaabu. Ekifaananyi ekyo yakiteeka mu lusenyi lw’e Dduula era n’agamba abantu bonna ab’ebitiibwa mu Babulooni, nga mw’otwalidde Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego, okukuŋŋaanira mu maaso gaakyo. Kabaka yalagira nti: ‘Bwe munaawulira eddoboozi ly’eŋŋombe, ery’endere, n’ery’ebivuga eby’enkoba, nga muvunnama nga musinza ekifaananyi ekya zzaabu! Oyo yenna anaagaana okukivunnamira ajja kusuulibwa mu kyokero omuli omuliro ogubumbujja.’ Abebbulaniya abo abasatu baavunnamira ekifaananyi ekyo, oba baanywerera ku Yakuwa?

Kabaka yalagira ebivuga bikubibwe. Abantu bonna baavunnama ne basinza ekifaananyi, naye Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego bo tebaavunnama. Ekyo abasajja abamu baakiraba era ne bagamba kabaka nti: ‘Abebbulaniya abasatu baagaanye okusinza ekifaananyi kye wakola.’ Nebukadduneeza yalagira Abebbulaniya abo ne baleetebwa mu maaso ge, era n’abagamba nti: ‘Ŋŋenda kubawa akakisa akalala musinze ekifaananyi. Bwe mutakikola, ŋŋenda kubasuula mu kyokero omuli omuliro ogubumbujja. Tewali katonda ajja kusobola kubawonya muliro ogwo.’ Baamuddamu nti: ‘Teweetaaga kutuwa kakisa kalala. Katonda waffe asobola okutuwonya. Naye ne bw’ataatuwonye, Ai kabaka, tetujja kusinza kifaananyi ekyo.’

Nebukadduneeza yasunguwala nnyo era n’agamba abasajja be nti: ‘Mukume omuliro mu kyokero gwake okusinga ogwa bulijjo emirundi musanvu!’ Oluvannyuma yalagira abasirikale be nti: ‘Musibe abasajja bano abasatu mubasuule mu muliro!’ Omuliro ogwo gwali mungi nnyo ne kiba nti abasirikale abo bwe baagusemberera baafiirawo. Naye bo Abebbulaniya abasatu baagwa mu kyokero. Kyokka Nebukadduneeza bwe yatunula mu kyokero, yalabamu abasajja bana nga batambulira wakati mu muliro. Yatya nnyo era n’abuuza abakungu be nti: ‘Tetwasudde abasajja basatu mu muliro? Naye kati ndabamu abasajja bana, ate ng’omu ku bo alabika nga malayika!’

Nebukadduneeza yasembera okumpi n’ekyokero n’agamba nti: ‘Mufulume, mmwe abaweereza ba Katonda Asingayo Okuba Waggulu!’ Abantu bonna beewuunya nnyo okulaba nti Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego baava mu muliro nga tewali kabi konna kabatuuseeko. Ensusu zaabwe, enviiri zaabwe, n’engoye zaabwe byali tebiyidde, era nga tebawunya na mukka.

Nebukadduneeza yagamba nti: ‘Atenderezebwe Katonda wa Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego, kubanga yatumye malayika we n’abawonya. Tewali katonda alinga Katonda waabwe.’

Okufaananako Abebbulaniya abasatu, oli mumalirivu okusigala ng’oli mwesigwa eri Yakuwa k’obe mu mbeera ki?

“Yakuwa Katonda wo gw’olina okusinza, era ye yekka gw’olina okuweereza.”​—Matayo 4:10