Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 63

Ebigambo Biwandiikibwa ku Kisenge

Ebigambo Biwandiikibwa ku Kisenge

Nga wayise ekiseera, Berusazza yafuuka kabaka wa Babulooni. Lumu ekiro yayita abakungu be ku kijjulo. Yalagira abaweereza be baleete ebikopo ebya zzaabu Nebukadduneeza bye yajja mu yeekaalu ya Yakuwa. Berusazza n’abagenyi be baanywera mu bikopo ebyo era ne batendereza bakatonda baabwe. Amangu ago, omukono gw’omuntu gwalabika ne guwandiika ebigambo ebitategeerekeka ku kisenge nga balaba.

Berusazza yatya nnyo era n’ayita abasajja be abagezigezi n’abagamba nti: ‘Omuntu yenna anaambuulira amakulu g’ebigambo bino, nja kumufuula wa kusatu mu abo abasingayo obuyinza mu Babulooni.’ Abasajja be abagezigezi baagezaako okunnyonnyola amakulu g’ebigambo ebyo, naye tewali n’omu ku bo eyasobola okubinnyonnyola. Mu kiseera ekyo nnaabakyala yajja n’agamba nti: ‘Waliwo omusajja ayitibwa Danyeri eyannyonnyolanga Nebukadduneeza amakulu g’ebintu ebitali bimu. Asobola okunnyonnyola amakulu g’ebigambo bino.’

Danyeri yaleetebwa mu maaso ga kabaka. Berusazza yamugamba nti: ‘Bw’oba ng’osobola okusoma ebigambo bino era n’ombuulira amakulu gaabyo, nja kukuwa omukuufu ogwa zzaabu era nja kukufuula wa kusatu mu abo abasingayo obuyinza mu Babulooni.’ Danyeri yagamba kabaka nti: ‘Saagala birabo byo, naye nja kukubuulira amakulu g’ebigambo bino. Kitaawo Nebukadduneeza yali wa malala naye Yakuwa n’amutoowaza. Ebyo byonna obadde obimanyi naye n’osalawo obutassa kitiibwa mu Yakuwa, n’onywera omwenge mu bikopo ebya zzaabu ebyaggibwa mu yeekaalu ya Yakuwa. N’olwekyo, ebigambo Katonda by’awandiise bye bino: Mene, Mene, Tekel, ne Parsin. Ebigambo bino bitegeeza nti Abameedi n’Abaperusi bajja kuwamba Babulooni, era ojja kuggibwa ku bwakabaka.’

Ekibuga Babulooni kyali kirabika ng’ekitayinza kuwambibwa. Kyaliko bbugwe ow’amaanyi era kyali kyetooloddwa omugga omunene. Naye mu kiro ekyo kyennyini Abameedi n’Abaperusi baakirumba. Kabaka wa Buperusi ayitibwa Kuulo yawugula amazzi g’omugga ogwo ne kisobozesa abasirikale be okuguyitamu ne batuuka ku miryango gy’ekibuga. Bwe baatuuka ku miryango gy’ekibuga, baasanga enzigi nzigule! Amagye gaayingira ne gawamba ekibuga era ne gatta kabaka. Bwe kityo, Kuulo yatandika okufuga Babulooni.

Nga wayise omwaka nga gumu, Kuulo yalangirira nti: ‘Yakuwa aŋŋambye okuddamu okuzimba yeekaalu ye mu Yerusaalemi. Buli omu ku bantu ba Yakuwa ayagala okuyamba mu mulimu ogwo wa ddembe okugenda e Yerusaalemi.’ Bwe kityo, nga Yakuwa bwe yali asuubizza, Abayudaaya bangi baddayo mu nsi yaabwe nga wayise emyaka 70 bukya Yerusaalemi kizikirizibwa. Kabaka Kuulo yazzaayo mu Yerusaalemi ebikopo ebya zzaabu n’ebya ffeeza awamu n’ebintu ebirala Nebukadduneeza bye yali aggye mu yeekaalu ya Yakuwa. Olaba engeri Yakuwa gye yakozesa Kuulo okuyamba abantu be?

“Kigudde! Babulooni Ekinene kigudde, era kifuuse ekifo ekibeeramu badayimooni.”​—Okubikkulirwa 18:2