Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 66

Ezera Yayigiriza Abantu Amateeka ga Katonda

Ezera Yayigiriza Abantu Amateeka ga Katonda

Waali wayise emyaka nga 70 bukya Abayisirayiri abasinga obungi baddayo e Yerusaalemi. Naye abamu baali bakyabeera mu bitundu ebitali bimu eby’obwakabaka bwa Buperusi. Omu ku bantu abo yali kabona ayitibwa Ezera, eyayigirizanga abantu Amateeka ga Yakuwa. Ezera yakimanyaako nti abantu abaali mu Yerusaalemi baali tebakwata Mateeka ga Yakuwa, era n’ayagala okugenda okubayamba. Kabaka Alutagizerugiizi owa Buperusi yamugamba nti: ‘Katonda yakuwa amagezi osobole okuyigiriza abantu Amateeka ge. Genda e Yerusaalemi awamu n’abo abaagala okugenda naawe.’ Ezera yagenda n’abo bonna abaali baagala okuddayo e Yerusaalemi. Baasooka kusaba Yakuwa abakuume mu lugendo lwabwe, oluvannyuma ne basimbula ne bagenda.

Oluvannyuma lw’emyezi ena, Ezera n’abo be yagenda nabo baatuuka e Yerusaalemi. Abaami b’omu Yerusaalemi baagamba Ezera nti: ‘Abayisirayiri baajeemera Yakuwa ne bawasa abakazi abasinza bakatonda ab’obulimba.’ Kiki Ezera kye yakola? Yafukamira mu maaso g’abantu n’asaba Yakuwa ng’agamba nti: ‘Yakuwa, otukoledde ebirungi bingi, naye twonoonye mu maaso go.’ Abantu baanakuwalira ekibi ekyo, naye baali bakyakola ebintu ebirala ebitasanyusa Yakuwa. Ezera yalonda abakadde n’abalamuzi okutunula mu nsonga eyo. Mu myezi esatu egyaddirira, abo bonna abaali batasinza Yakuwa baagobebwa.

Waayita emyaka emirala nga 12, era mu kiseera ekyo, bbugwe wa Yerusaalemi yaddamu okuzimbibwa. Oluvannyuma Ezera yakuŋŋaanya abantu mu kibangirizi n’abasomera Amateeka ga Katonda. Ezera bwe yabikkula ekitabo ky’Amateeka, abantu baayimirira. Ezera yatendereza Yakuwa, era abantu ne bawanika emikono gyabwe okulaga nti bakkiriziganya naye. Oluvannyuma Ezera yasomera abantu Amateeka era n’agannyonnyola, era abantu ne bawuliriza bulungi. Abantu baakikkiriza nti baali bazzeemu okumenya Amateeka ga Yakuwa. Ku lunaku olwaddako, Ezera yeeyongera okusomera abantu Amateeka. Abantu baakiraba nti baali balina okukwata Embaga ey’Ensiisira. Amangu ddala baatandika okuteekateeka embaga eyo.

Abantu baakwata Embaga ey’Ensiisira okumala ennaku musanvu, era baasanyuka ne beebaza Yakuwa olw’okubawa amakungula amalungi. Waali tewabangawo Mbaga ya Nsiisira ng’eyo okuva mu kiseera kya Yoswa. Oluvannyuma lw’embaga eyo, abantu baakuŋŋaana ne basaba nga bagamba nti: ‘Ai Yakuwa, watununula okuva mu buddu, n’otuliisa mu ddungu, era n’otuwa ensi ennungi. Naye enfunda n’enfunda, twakujeemera. Watuma bannabbi bo okutulabula naye ne tutabawuliriza. Kyokka, watugumiikiriza. Wakuuma endagaano gye wakola ne Ibulayimu. Naffe tusuubiza okukugondera.’ Obweyamo obwo bwe baakola baabuteeka mu buwandiike, era abaami, Abaleevi, ne bakabona ne bateekako akabonero.

“Abalina essanyu beebo abawulira ekigambo kya Katonda ne bakikolerako!”​—Lukka 11:28