Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 68

Erizabeesi Azaala Omwana

Erizabeesi Azaala Omwana

Nga wayise emyaka nga 400 bukya bbugwe wa Yerusaalemi addamu okuzimbibwa, waaliwo kabona ayitibwa Zekkaliya ne mukyala we abaali babeera okumpi n’ekibuga ekyo. Baali bamaze emyaka mingi nga bafumbo naye nga tebalina mwana n’omu. Lumu Zekkaliya bwe yali ayotereza obubaani mu yeekaalu, malayika Gabulyeri yamulabikira. Zekkaliya yatya nnyo, naye Gabulyeri yamugamba nti: ‘Totya. Nkuleetedde amawulire amalungi okuva eri Yakuwa. Mukyala wo Erizabeesi ajja kuzaala omwana era ojja kumutuuma Yokaana. Yakuwa alonze Yokaana okukola omulimu ogw’enjawulo.’ Zekkaliya yabuuza malayika nti: ‘Kino nnyinza kukikakasiza ku ki? Nze ne mukyala wange tukaddiye. Tetusobola kuzaala mwana.’ Gabulyeri yamugamba nti: ‘Katonda y’antumye okukuleetera amawulire gano. Naye olw’okuba bye njogedde tobikkirizza, ojja kuziba omumwa okutuusa omwana oyo lw’alizaalibwa.’

Ku olwo, Zekkaliya yamala ekiseera kiwanvu mu yeekaalu. Bwe yafuluma ebweru, abantu baayagala okumanya ekyali kimulwisizzaayo. Zekkaliya yali tasobola kwogera era yali akozesa bubonero. Abantu baakitegeera nti Zekkaliya yali alina obubaka bw’afunye okuva eri Katonda.

Nga wayise ekiseera, Erizabeesi yafuna olubuto n’azaala omwana ow’obulenzi, nga malayika bwe yali agambye. Mikwano gye n’ab’eŋŋanda ze bajja okulaba omwana oyo era ne basanyukira wamu ne Erizabeesi. Erizabeesi yabagamba nti: ‘Omwana ono ajja kuyitibwa Yokaana.’ Mikwano gye n’ab’eŋŋanda ze baamugamba nti: ‘Tewali n’omu ku b’eŋŋanda zo ayitibwa linnya eryo. Mutuume erinnya lya kitaawe, Zekkaliya.’ Naye Zekkaliya yasaba ekipande n’awandiikako nti: ‘Yokaana lye linnya lye.’ Mu kiseera ekyo Zekkaliya yazibuka omumwa, n’addamu okwogera! Amawulire agakwata ku mwana oyo gaabuna mu Buyudaaya wonna, era abantu ne bagamba nti: ‘Ddala omwana ono aliba muntu wa ngeri ki?’

Mu kiseera ekyo Zekkaliya yajjula omwoyo omutukuvu n’agamba nti: ‘Yakuwa atenderezebwe. Yasuubiza Ibulayimu nti ajja kutuwa omulokozi, Masiya, okutununula. Yokaana ajja kuba nnabbi, era ajja kuteekerateekera Masiya ekkubo.’

Waliwo ekintu eky’enjawulo ekyatuuka ne ku omu ku b’eŋŋanda za Erizabeesi ayitibwa Maliyamu. Ekintu ekyo tujja kukiraba mu ssuula eddako.

“Eri abantu tekisoboka, naye eri Katonda ebintu byonna bisoboka.”​—Matayo 19:26