Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 70

Bamalayika Balangirira Okuzaalibwa kwa Yesu

Bamalayika Balangirira Okuzaalibwa kwa Yesu

Omufuzi w’obwakabaka bwa Rooma eyali ayitibwa Kayisaali Agusito, yayisa ekiragiro nti Abayudaaya bonna baddeyo mu bibuga by’ewaabwe beewandiise. Yusufu ne Maliyamu baagenda e Besirekemu, Yusufu gye yali azaalibwa, okwewandiisa. Mu kiseera ekyo, Maliyamu yali anaatera okuzaala.

Bwe baatuuka e Besirekemu, ekifo kyokka kye baafuna okusulamu kyali mu kiyumba ebisolo mwe bisula. Omwo Maliyamu mwe yazaalira Yesu. Yamubikka engoye n’amuzazika mu lutiba ebisolo mwe biriira.

Okumpi ne Besirekemu waaliwo abasumba abaali ku ttale nga bakuuma ebisolo byabwe ekiro. Amangu ago malayika yajja n’ayimirira mu maaso gaabwe era ekitiibwa kya Yakuwa ne kyakaayakana awo wonna we baali. Abasumba abo baatya nnyo, naye malayika yabagamba nti: ‘Temutya. Mbaleetedde amawulire ag’essanyu. Olwa leero Masiya azaaliddwa mu Besirekemu.’ Mu kiseera ekyo bamalayika abalala bangi baalabika mu bbanga ne bagamba nti: ‘Ekitiibwa kibeere eri Katonda mu ggulu, n’emirembe gibeere ku nsi.’ Oluvannyuma balalayika abo baabulawo. Kiki abasumba kye baakola?

Abasumba baagamba nti: ‘Tugenderewo e Besirekemu.’ Baayanguwa ne bagenda e Besirekemu ne basanga Yusufu ne Maliyamu awamu n’omwana eyali azaaliddwa nga bali mu kiyumba ky’ebisolo.

Buli muntu eyawulira ku bigambo malayika bye yagamba abasumba, yeewuunya nnyo. Maliyamu yafumiitiriza nnyo ku bigambo ebyo era teyabyerabira. Abasumba baddayo nga beebaza Yakuwa olw’ebyo byonna bye baali bawulidde ne bye baali balabye.

“Nnava eri Katonda era ndi wano. Sajja ku bwange, naye Oyo ye yantuma.”​—Yokaana 8:42