Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 71

Yakuwa Yakuuma Yesu

Yakuwa Yakuuma Yesu

Mu nsi emu eyali ebuvanjuba bwa Isirayiri, waaliyo abantu abaali balowooza nti bwe batunuulira emmunyeenye basobola okumanya ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso. Lumu ekiro, abamu ku bantu abo baalaba ekintu ekiringa emmunyeenye eyaka ennyo ku ggulu era ne bakigoberera. “Emmunyeenye” eyo yabakulembera n’ebatwala e Yerusaalemi. Abasajja abo abaali bavudde mu nsi ey’Ebuvanjuba baabuuza abantu nti: ‘Omwana ajja okuba kabaka w’Abayudaaya ali ludda wa? Tuzze okumuvunnamira.’

Kerode, eyali kabaka wa Yerusaalemi, bwe yawulira ku kuzaalibwa kw’oyo eyali ow’okufuuka kabaka, yatya nnyo. Kerode yabuuza bakabona abakulu ‘kabaka oyo gye yali ow’okuzaalibwa?’ Baamugamba nti: ‘Bannabbi baagamba nti yali wa kuzaalibwa mu Besirekemu.’ Bwe kityo, Kerode yagamba abasajja abaava Ebuvanjuba nti: ‘Mugende e Besirekemu muzuule omwana oyo, oluvannyuma mukomewo mumbuulire w’ali. Nange njagala kumuvunnamira.’ Naye ekyo Kerode si kye yali ayagala okukola.

“Emmunyeenye” eyo yaddamu okutambula. Abasajja abo baagigoberera n’ebatuusa e Besirekemu. “Emmunyeenye” eyo bwe yatuuka ku nnyumba emu yayimirira, era abasajja abo ne bayingira mu nnyumba eyo. Baasangamu Yesu ne maama we, Maliyamu. Baavunnamira Yesu era ne bamuwa ebirabo omwali zzaabu, obubaani obweru, n’eby’akaloosa ebiyitibwa miira. Naye ddala Yakuwa ye yali atumye abasajja abo okuzuula Yesu? Nedda.

Mu kiro ekyo, Yakuwa yagamba Yusufu mu kirooto nti: ‘Kerode ayagala kutta Yesu. Twala omwana wo ne mukyala wo muddukire e Misiri. Musigale eyo okutuusa lwe ndibagamba okuvaayo.’ Amangu ddala Yusufu yatwala ab’omu maka ge e Misiri.

Yakuwa yagamba abasajja abaava Ebuvanjuba obutaddayo wa Kerode. Kerode bwe yakimanya nti abasajja abo baali tebagenda kukomawo, yanyiiga nnyo. Okuva bwe kiri nti Kerode yali tasobola kuzuula Yesu, yayisa ekiragiro abaana bonna abaali mu myaka gya Yesu, abaali mu Besirekemu, battibwe. Naye mu kiseera ekyo Yesu yali mu Misiri.

Oluvannyuma lw’ekiseera, Kerode yafa. Yakuwa yagamba Yusufu nti: ‘Kati osobola okuddayo mu Isirayiri.’ Yusufu, Maliyamu, awamu ne Yesu baddayo mu Isirayiri, ne babeera mu kibuga ekiyitibwa Nazaaleesi.

“Bwe kityo n’ekigambo kyange ekiva mu kamwa kange bwe kiriba . . . , kirituukiririza ddala ekyo kye nkituma okukola.”​—Isaaya 55:11