Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 73

Yokaana Ategekera Yesu Ekkubo

Yokaana Ategekera Yesu Ekkubo

Yokaana, mutabani wa Zekkaliya ne Erizabeesi, yakula n’afuuka nnabbi. Yakuwa yakozesa Yokaana okulangirira nti Masiya yali ajja. Naye mu kifo ky’okulangirira obubaka obwo mu makuŋŋaaniro oba mu bibuga, Yokaana yabulangiririranga mu ddungu. Abantu baavanga e Yerusaalemi ne mu bitundu ebirala ebya Buyudaaya ne bagenda okuwuliriza Yokaana. Yokaana yayigiriza abantu nti okusobola okusanyusa Katonda baalina okulekera awo okukola ebintu ebibi. Ekyo kyaviirako abantu bangi okwenenya, era Yokaana n’ababatiriza mu Mugga Yoludaani.

Yokaana yeemalira ku mulimu Katonda gwe yamuwa. Ebyambalo bye byali byakolebwa mu byoya by’eŋŋamira, era yalyanga nzige na mubisi gwa njuki. Abantu bangi baali baagala nnyo okumanya ebikwata ku Yokaana. N’Abafalisaayo awamu n’Abasaddukaayo abaali ab’amalala nabo baagenda okumulaba. Yokaana yabagamba nti: ‘Mulina okukyusa amakubo gammwe n’okwenenya. Temulowooza nti muli ba kitalo olw’okuba mugamba nti muli baana ba Ibulayimu. Ekyo tekitegeeza nti muli baana ba Katonda.’

Abantu bangi baagenda eri Yokaana ne bamubuuza nti: ‘Kiki kye tulina okukola okusobola okusanyusa Katonda?’ Yagamba Abayudaaya nti: ‘Oyo alina ebyambalo ebibiri, ekimu akiwe oyo atalina.’ Omanyi ensonga lwaki Yokaana yayogera bw’atyo? Yokaana yali ayagala abayigirizwa be bakimanye nti okusobola okusanyusa Katonda balina okwagala bantu bannaabwe.

Yokaana yagamba abasolooza b’omusolo nti: ‘Temusoloozanga musolo gusukka ku ogwo ogwagerekebwa.’ Ate bo abasirikale yabagamba nti: ‘Temulyanga nguzi era temuwaayirizanga.’

Bakabona n’Abaleevi nabo baagenda eri Yokaana ne bamubuuza nti: ‘Ggwe ani? Buli muntu ayagala okukumanya.’ Yokaana yabaddamu nti: ‘Ndi ddoboozi ly’oyo ayogerera mu ddungu, ayamba abantu okudda eri Yakuwa, nga nnabbi Isaaya bwe yagamba.’

Abantu baali baagala nnyo okuwulira ebyo Yokaana bye yali ayigiriza. Bangi baali beebuuza obanga Yokaana ye yali Masiya. Naye Yokaana yabagamba nti: ‘Waliwo ansinga obuyinza ajja, era sisaanira na kusumulula buguwa bwa ngatto ze. Nze mbatiza na mazzi naye ye ajja kubatiza na mwoyo mutukuvu.’

“Omusajja ono yajja ng’omujulirwa okusobola okuwa obujulirwa ku kitangaala, abantu aba buli kika basobole okukkiriza nga bayitira mu ye.”​—Yokaana 1:7