Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 76

Yesu Alongoosa Yeekaalu

Yesu Alongoosa Yeekaalu

Mu mwaka gwa 30 E.E., Yesu yagenda e Yerusaalemi. Mu kiseera ekyo, abantu bangi baali bazze mu Yerusaalemi okukwata embaga ey’Okuyitako. Ku mbaga eyo abantu baawangayo ebiweebwayo eby’ensolo ku yeekaalu. Abantu abamu bajjanga n’ebisolo eby’okuwaayo, ate abalala baabigulanga mu Yerusaalemi.

Yesu bwe yagenda mu yeekaalu, yalaba abantu nga batundiramu ebisolo. Baali bakolera eby’obusuubuzi mu yeekaalu mwe basinziza Yakuwa! Kiki Yesu kye yakola? Yafuna emiguwa n’agikolamu embooko n’agoba endiga n’ente mu yeekaalu. Yavuunika emmeeza z’abo abaali bavungisa ssente, era n’ayiwa ssente zaabwe. Yesu yagamba abo abaali batunda amayiba nti: “Ebintu bino mubiggye wano! Ennyumba ya Kitange mulekere awo okugifuula akatale!”

Abantu abaali ku yeekaalu beewuunya nnyo ekyo Yesu kye yakola. Era abayigirizwa ba Yesu bajjukira obunnabbi obukwata ku Masiya obugamba nti: ‘Okwagala ennyo ennyumba yo kulimmalawo.’

Oluvannyuma, mu mwaka gwa 33 E.E., Yesu yaddamu okulongoosa yeekaalu omulundi ogw’okubiri. Yesu yali tasobola kukkiriza muntu yenna kutyoboola nnyumba ya Kitaawe.

“Temusobola kuba baddu ba Katonda na ba Byabugagga.”​—Lukka 16:13