Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 79

Yesu Akola Ebyamagero Bingi

Yesu Akola Ebyamagero Bingi

Yesu yajja ku nsi okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka. Okusobola okulaga ebyo Yesu by’anaakola ng’afuga nga Kabaka, Yakuwa yamuwa omwoyo omutukuvu okukola ebyamagero. Yesu yali asobola okuwonya endwadde eza buli ngeri. Yonna Yesu gye yagendanga, abantu abalwadde bajjanga gy’ali abayambe, era bonna yabawonyanga. Yesu yawonya abazibe b’amaaso, bakiggala, abalema, n’abo abaaliko dayimooni. Abantu ne bwe baakwatanga obukwasi ku byambalo bya Yesu, baawonanga. Abantu baagobereranga Yesu buli gye yagendanga. Yesu ne bwe yabanga ayagala okubeerako yekka abantu ne bajja gy’ali, teyabagobanga.

Lumu, abasajja baaleeta omusajja eyasannyalala ewa Yesu. Naye olw’okuba ennyumba yali ejjudde abantu, abasajja abo baali tebasobola kutuusa musajja oyo awali Yesu. Bwe kityo, baakola ekituli mu kasolya k’ennyumba ne bayisaamu omusajja oyo ne bamutuusa ku Yesu. Yesu yagamba omusajja oyo nti: ‘Yimuka otambule.’ Omusajja oyo yayimuka n’atambula era abantu ne beewuunya nnyo.

Ate olulala, Yesu bwe yali ayingira mu kibuga, abasajja kkumi abaalina ebigenge baayimirira wala ne baleekaana nga bagamba nti: ‘Yesu, tuyambe!’ Mu kiseera ekyo, abagenge tebakkirizibwanga kusemberera bantu balala. Yesu yagamba abasajja abo okugenda mu yeekaalu, ng’Amateeka ga Yakuwa bwe gaali galagira abagenge okukola oluvannyuma lw’okuwona. Abasajja abo bwe baali bagenda, baawona. Omu ku bagenge abo bwe yalaba nti awonye, yakomawo ne yeebaza Yesu era n’atendereza Katonda. Ku bagenge abo ekkumi, oyo yekka ye yeebaza Yesu.

Ate era waaliwo omukazi eyali amaze emyaka 12 nga mulwadde era ng’ayagala okuwonyezebwa. Yayita mu bantu n’akwata ku lukugiro lw’ekyambalo kya Yesu. Amangu ago omukazi oyo yawona. Yesu yabuuza nti: “Ani ankutteko?” Omukazi oyo yatya nnyo, naye yabuulira Yesu amazima. Yesu yamugumya n’amugamba nti: ‘Muwala, genda mirembe.’

Omukulu w’ekkuŋŋaaniro ayitibwa Yayiro yeegayirira Yesu n’amugamba nti: ‘Jjangu tugende ewange. Muwala wange mulwadde nnyo.’ Naye Yesu bwe yali nga tannatuuka wa Yayiro, muwala wa Yayiro yafa. Yesu bwe yatuukayo, yalaba abantu bangi nga bakaaba. Yesu yabagamba nti: ‘Temukaaba; omuwala tafudde, wabula yeebase.’ Oluvannyuma yakwata omuwala oyo ku mukono n’agamba nti: ‘Muwala, situka!’ Amangu ddala omuwala oyo yasituka, era Yesu n’agamba bazadde be bamuwe eky’okulya. Bazadde b’omuwala oyo baasanyuka nnyo!

‘Katonda yamufukako omwoyo omutukuvu era n’amuwa amaanyi, n’agenda mu bitundu byonna ng’akola ebintu ebirungi era ng’awonya abo bonna abaali batawaanyizibwa Omulyolyomi, kubanga Katonda yali naye.’​—Ebikolwa 10:38