Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 82

Yesu Ayigiriza Abayigirizwa Be Okusaba

Yesu Ayigiriza Abayigirizwa Be Okusaba

Abafalisaayo baayagalanga nnyo okweraga. Baateranga okusabira mu bifo ebya lukale abalala basobole okubalaba. Abafalisaayo baakwatanga bukusu essaala empanvu era ne baziddiŋŋananga nga bali mu makuŋŋaaniro ne mu nguudo, abalala basobole okubalaba. N’olwekyo, abantu beewuunya nnyo Yesu bwe yabagamba nti: ‘Bwe muba musaba, temuba ng’Abafalisaayo. Balowooza nti Katonda abasiima olw’okukozesa ebigambo ebingi nga basaba, naye ekyo si bwe kiri. Okusaba kuba wakati w’omuntu ne Yakuwa. Bwe muba musaba, temuddiŋŋananga bigambo. Yakuwa ayagala mumubuulire ekyo kyennyini ekibali ku mutima.

‘Musabenga bwe muti: “Kitaffe ali mu ggulu, erinnya lyo litukuzibwe. Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.”’ Yesu era yagamba abantu okusaba Katonda abawe emmere eya leero, abasonyiwe ebibi byabwe, era abakolere ne ku nsonga endala ezikwata ku bulamu bwabwe.

Yesu era yagamba nti: ‘Temukoowanga kusaba. Mweyongere okusaba Yakuwa Kitammwe abawe ebintu ebirungi. Buli muzadde aba ayagala okuwa omwana we ebintu ebirungi. Omwana wo bw’akusaba omugaati, oyinza okumuwa ejjinja? Bw’akusaba ekyennyanja, oyinza okumuwa omusota?’

Yesu yagattako nti: ‘Bwe kiba nti mmwe mumanyi okuwa abaana bammwe ebintu ebirungi, mulowooza nti Yakuwa Kitammwe taasingewo nnyo okubawa omwoyo omutukuvu? Mumusabe agubawe.’ Ofuba okukolera ku bigambo bya Yesu ebyo? Biki by’otera okusaba Yakuwa?

“Musabenga, muliweebwa; munoonyenga, mulizuula; mukonkonenga, muliggulirwawo.”​—Matayo 7:7