Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 85

Yesu Awonya Omusajja ku Ssabbiiti

Yesu Awonya Omusajja ku Ssabbiiti

Abafalisaayo baali tebaagala Yesu era baali banoonya kwe bayinza okusinziira okumukwata. Baagamba Yesu nti talina kuwonya muntu yenna ku Ssabbiiti. Naye lumu ku Ssabbiiti, Yesu bwe yali atambula, yasanga omusajja eyazaalibwa nga muzibe, ng’asabiriza. Yesu yagamba abayigirizwa be nti: ‘Mulabe engeri amaanyi ga Katonda gye gagenda okweyolekera ku musajja ono.’ Yesu yaddira ettaka n’alitabula n’amalusu ge, n’alisiiga ku maaso g’omusajja oyo. Yesu yagamba omusajja oyo nti: ‘Genda mu kidiba ky’e Sirowamu onaabe mu maaso.’ Ekyo omusajja oyo yakikola era n’azibuka amaaso.

Abantu beewuunya nnyo. Baagamba nti: ‘Ono si ye musajja eyasabirizanga, oba amufaanana bufaananyi?’ Omusajja yabagamba nti: ‘Nze musajja eyazaalibwa nga muzibe!’ Abantu baamubuuza nti: ‘Wazibuse otya amaaso?’ Bwe yababuulira engeri gye yali azibuseemu amaaso, baamutwala eri Abafalisaayo.

Omusajja yagamba Abafalisaayo nti: ‘Yesu yaddidde ettaka n’alitabulamu amalusu n’alinsiiga ku maaso era n’aŋŋamba ŋŋende nnaabe mu maaso. Bwe nnakikoze ne nzibuka amaaso.’ Abafalisaayo baagamba nti: ‘Bwe kiba nti Yesu awonya abantu ku Ssabbiiti, amaanyi g’akozesa tegava eri Katonda.’ Naye abamu baagamba nti: ‘Singa amaanyi ge tegava eri Katonda, teyandisobodde kuwonya bantu.’

Abafalisaayo baayita bazadde b’omusajja oyo ne bababuuza nti: ‘Kizze kitya okuba nti kati omwana wammwe alaba?’ Bazadde b’omusajja oyo baatya kubanga Abafalisaayo baali bagambye nti omuntu yenna eyandikkiririzza mu Yesu yandibadde agobebwa mu kkuŋŋaaniro. Bwe kityo baagamba nti: ‘Tetumanyi. Mumubuuze.’ Abafalisaayo baddamu okubuuza omusajja oyo ebibuuzo okutuusa bwe yabagamba nti: ‘Mbabuulidde byonna ebyabaddewo. Lwaki mweyongera okumbuuza ebibuuzo?’ Abafalisaayo baanyiiga nnyo era ne bagoba omusajja oyo.

Yesu yagenda n’azuula omusajja oyo era n’amubuuza nti: ‘Okkiririza mu Masiya?’ Omusajja yamuddamu nti: ‘Nnandimukkiririzzaamu singa mbadde mmumanyi.’ Yesu yamugamba nti: ‘Nze Masiya.’ Mu butuufu, Yesu yalaga omusajja oyo ekisa kingi, kubanga ng’oggyeeko okumuwonya, yamuyamba okuba n’okukkiriza okunywevu.

“Mwabula, kubanga temumanyi Byawandiikibwa wadde amaanyi ga Katonda.”​—Matayo 22:29