Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 86

Yesu Azuukiza Laazaalo

Yesu Azuukiza Laazaalo

Laazaalo ne bannyina ababiri, Maliyamu ne Maliza, baali babeera Bessaniya era baali mikwano gya Yesu. Lumu, Yesu bwe yali emitala wa Yoludaani, Maliyamu ne Maliza baamuweereza obubaka ne bamugamba nti: ‘Laazaalo mulwadde nnyo. Yanguwako ojje!’ Naye Yesu teyajjirawo. Waayita ennaku bbiri, Yesu n’agamba abayigirizwa be nti: ‘Tugende e Bessaniya. Laazaalo yeebase era ŋŋenda kumuzuukusa.’ Abatume baamugamba nti: ‘Laazaalo bw’aba nga yeebase, ajja kuba bulungi.’ Oluvannyuma Yesu yabagamba kaati nti: ‘Laazaalo afudde.’

Yesu we yatuukira e Bessaniya, Laazaalo yali amaze mu ntaana ennaku nnya. Abantu bangi baali bazze okubudaabuda Maliza ne Maliyamu. Maliza bwe yakiwulira nti Yesu yali azze, yayanguwa n’agenda okumusisinkana. Yamugamba nti: “Mukama wange, singa waliwo, mwannyinaze teyandifudde.” Yesu yamugamba nti: ‘Maliza, muganda wo ajja kuzuukira. Ekyo okikkiriza?’ Maliza yamuddamu nti: “Mmanyi nti alizuukira mu kuzuukira kw’oku lunaku olw’enkomerero.” Yesu yamugamba nti: “Nze kuzuukira n’obulamu.”

Oluvannyuma Maliza yagenda eri Maliyamu n’amugamba nti: ‘Yesu azze.’ Maliyamu yayimuka mangu n’agenda eri Yesu, era abantu bangi ne bamugoberera. Maliyamu yavunnama mu maaso ga Yesu n’akaaba nnyo. Maliyamu yagamba Yesu nti: “Mukama wange, singa waliwo mwannyinaze teyandifudde!” Yesu bwe yalaba ennaku Maliyamu gye yalimu, naye yatandika okukaaba. Abantu bwe baalaba Yesu ng’akaaba, baagamba nti: ‘Ng’abadde amwagala!’ Kyokka abalala beebuuza nti: ‘Lwaki teyaziyiza mukwano gwe kufa?’ Kiki Yesu kye yakola?

Yesu yagenda ku ntaana mwe baali batadde Laazaalo era entaana yali eteekeddwako ejjinja eddene. Yesu yagamba nti: ‘Muggyeewo ejjinja.’ Maliza yamugamba nti: ‘Kati ateekwa okuba ng’awunya, kubanga waakayita ennaku nnya ng’ali mu ntaana!’ Wadde kyali kityo, baggyawo ejjinja era Yesu n’asaba Katonda ng’agamba nti: ‘Kitange nkwebaza olw’okuba ompulidde. Nkimanyi nti bulijjo ompulira, naye njogedde mu ddoboozi eriwulikika abantu bano bategeere nti ggwe wantuma.’ Oluvannyuma yayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti: “Laazaalo, fuluma!” Ekintu ekyewuunyisa kyabaawo: Laazaalo yava mu ntaana ng’akyazingiriddwako engoye. Yesu yagamba nti: “Mumusumulule, mumuleke agende.”

Bangi ku abo abaalaba ekyamagero ekyo Yesu kye yakola baamukkiririzaamu. Naye abamu ku bo baagenda ne babuulira Abafalisaayo ekyali kibaddewo. Bwe kityo, Abafalisaayo baayagala okutta Laazaalo ne Yesu. Omu ku batume 12 ayitibwa Yuda Isukalyoti, yagenda eri Abafalisaayo mu kyama n’abagamba nti: ‘Munnampa ssente mmeka bwe nnaabayamba okuzuula Yesu?’ Baamusuubiza okumuwa ebitundu bya ffeeza 30, era Yuda yatandika okunoonya engeri y’okuwaayo Yesu eri Abafalisaayo.

“Katonda ow’amazima ye Katonda atulokola;era Yakuwa Mukama Afuga Byonna atuwonya okufa.”​—Zabbuli 68:20