Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 87

Eky’Ekiro kya Yesu Ekyasembayo

Eky’Ekiro kya Yesu Ekyasembayo

Buli mwaka mu mwezi gwa Nisaani ng’ennaku z’omwezi 14, Abayudaaya baakwatanga embaga ey’Okuyitako. Embaga eyo yabajjukizanga engeri Yakuwa gye yabanunula okuva mu buddu e Misiri n’abatwala mu Nsi Ensuubize. Mu mwaka gwa 33 E.E., Yesu n’abatume be embaga ey’Okuyitako baagikwatira mu kisenge ekya waggulu mu Yerusaalemi. Bwe baali banaatera okumaliriza ekijjulo ekyo, Yesu yagamba nti: ‘Omu ku mmwe agenda kundyamu olukwe.’ Abatume beewuunya nnyo, ne babuuza Yesu nti: ‘Ani oyo?’ Yesu yabaddamu nti: ‘Y’oyo gwe ŋŋenda okuwa omugaati guno.’ Yesu yawa Yuda Isukalyoti omugaati, era amangu ago Yuda yasituka n’afuluma.

Oluvannyuma Yesu yasaba, n’akwata omugaati, n’agumenyamu, n’aguwa abatume be abaali basigaddewo. Yabagamba nti: ‘Mulye omugaati guno. Gukiikirira omubiri gwange ogugenda okuweebwayo ku lwammwe.’ Oluvannyuma yakwata envinnyo n’asaba, era n’agiwa abatume be. Yabagamba nti: ‘Munywe envinnyo eno. Ekiikirira omusaayi gwange ogugenda okuyiibwa, abantu basobole okusonyiyibwa ebibi. Mbasuubiza nti mujja kufuga nange nga bakabaka mu ggulu. Mukolenga bwe muti buli mwaka okunzijukiranga.’ N’okutuusa leero, buli mwaka nga Nisaani 14 akawungeezi, abagoberezi ba Yesu bakwata omukolo ogwo. Omukolo ogwo kati guyitibwa Eky’Ekiro kya Mukama Waffe.

Oluvannyuma lw’okulya eky’ekiro ekyo, abatume ba Yesu baakaayana ku ani ku bo eyali asinga obukulu. Yesu yabagamba nti: ‘Omukulu mu mmwe y’oyo eyeetwala ng’asembayo obuto era asingayo okuba owa wansi mu mmwe.

‘Muli mikwano gyange. Mbabuulira byonna Kitange by’ayagala mbabuulire. Nnaatera okugenda mu ggulu ewa Kitange. Nja kubaleka wano ku nsi, naye bwe munaayagalananga, abantu bajja kumanya nti muli bayigirizwa bange. Mulina okwagalananga nga nze bwe mbadde mbaagala.’

Oluvannyuma Yesu yasaba Yakuwa okukuuma abayigirizwa be bonna. Yasaba Yakuwa abayambe okukolera awamu mu mirembe. Yasaba erinnya lya Yakuwa litukuzibwe. Oluvannyuma Yesu n’abatume be baayimba ennyimba ezitendereza Yakuwa era bwe baamala okuyimba ne bafuluma wabweru. Ekiseera kyali kisembedde Yesu akwatibwe.

“Temutya mmwe ekisibo ekitono, kubanga Kitammwe asazeewo okubawa Obwakabaka.”​—Lukka 12:32