Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 90

Yesu Afiira e Ggologoosa

Yesu Afiira e Ggologoosa

Bakabona abakulu baatwala Yesu mu lubiri lwa Gavana Piraato. Piraato yababuuza nti: ‘Omusajja ono alina musango ki?’ Baamuddamu nti: ‘Yeeyita kabaka!’ Piraato yabuuza Yesu nti: “Ggwe Kabaka w’Abayudaaya?” Yesu yamuddamu nti: “Obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno.”

Oluvannyuma Piraato yalagira batwale Yesu ewa Kerode, omufuzi wa Ggaliraaya, alabe obanga waliwo omusango gwonna gwe yali azizza. Kerode yakiraba nti Yesu teyalina musango gwonna gwe yali azzizza, era bw’atyo yalagira bamuzzeeyo ewa Piraato. Piraato yagamba abantu nti: ‘Nze ne Kerode tulaba nga tewali musango gwonna musajja ono gw’azizza. Ŋŋenda kumuleka agende.’ Ekibiina ky’abantu kyaleekaanira waggulu nti: ‘Omusajja ono mutte.’ Abasirikale baakuba Yesu embooko era ne bamuwandulira amalusu. Baamwambaza engule ey’amaggwa era ne batandika okumujerega nga bagamba nti: “Emirembe gibe naawe, Kabaka w’Abayudaaya.” Piraato yaddamu n’agamba ekibiina ky’abantu nti: ‘Omusajja ono siraba musango gw’azzizza.’ Naye abantu baaleekaana nga bagamba nti: “Mukomerere ku muti!” Bwe kityo, Piraato yawaayo Yesu akomererwe.

Baatwala Yesu e Ggologoosa, ne bamukomerera ku muti, oluvannyuma ne baguyimiriza. Yesu yasaba ng’agamba nti: “Kitange, basonyiwe kubanga tebamanyi kye bakola.” Abantu baatandika okukudaalira Yesu ne bamugamba nti: ‘Bw’oba oli Mwana wa Katonda, weggye ku muti! Weerokole.’

Omu ku bamenyi b’amateeka eyali awanikiddwa ku muti okumpi ne Yesu yamugamba nti: “Onzijukiranga ng’otuuse mu Bwakabaka bwo.” Yesu yamuddamu nti: “Oliba nange mu Lusuku lwa Katonda.” Ku ssaawa nga mukaaga ez’omu ttuntu, ekizikiza kyakwata ku nsi okumala essaawa ssatu. Abamu ku bayigirizwa ba Yesu baali bayimiridde kumpi n’omuti Yesu kwe yali awanikiddwa era omu ku bo yali Maliyamu, maama wa Yesu. Yesu yagamba Yokaana alabirire Maliyamu nga bwe yandirabiridde maama we.

Oluvannyuma Yesu yagamba nti: “Kiwedde!” Era yakutamya omutwe gwe n’afa. Mu kiseera ekyo, musisi ow’amaanyi yayita. Olutimbe lw’omu yeekaalu olwali olugumu olwali lwawulawo Awatukuvu n’Awansinga Obutukuvu lwayulikamu wakati. Omu ku basirikale yagamba nti: ‘Mazima ddala ono abadde Mwana wa Katonda.’

“Ebisuubizo bya Katonda ka bibe bingi kwenkana wa, bifuuse ‘yee’ okuyitira mu oyo.”​—2 Abakkolinso 1:20