Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 91

Yesu Azuukizibwa

Yesu Azuukizibwa

Yesu bwe yamala okufa, omusajja omugagga ayitibwa Yusufu yasaba Piraato amukkirize okuggya omulambo gwa Yesu ku muti. Yusufu yazinga omulambo gwa Yesu mu lugoye oluyonjo olwa kitaani n’ateekamu eby’akaloosa n’aguteeka mu ntaana empya. Oluvannyuma yateeka ejjinja eddene ku mulyango gw’entaana. Bakabona abakulu baagamba Piraato nti: ‘Twekengedde abayigirizwa ba Yesu, kubanga bayinza okujja ne babba omulambo gwa Yesu ne bagamba nti azuukidde.’ Piraato yabagamba nti: ‘Mugende munywereze ddala ejjinja eriri ku mulyango gw’entaana era muteekeko n’abakuumi.’

Oluvannyuma lw’ennaku ssatu, waliwo abakazi abaagenda ku ntaana ku makya ennyo ne basanga ng’ejjinja eryaliko liggiddwako. Munda mu ntaana mwalimu malayika n’abagamba nti: ‘Temutya. Yesu yazuukiziddwa. Mugende mugambe abayigirizwa be bagende bamusisinkane e Ggaliraaya.’

Maliyamu Magudaleena yayanguwa n’agenda okusisinkana Peetero ne Yokaana. Yabagamba nti: ‘Waliwo atutte omulambo gwa Yesu!’ Peetero ne Yokaana badduka ne bagenda ku ntaana. Bwe baalaba ng’entaana njereere, baddayo ewaabwe.

Maliyamu bwe yakomawo ku ntaana, yalaba bamalayika babiri munda mu ntaana n’abagamba nti: ‘Simanyi gye batutte Mukama wange.’ Oluvannyuma yalaba omusajja gwe yalowooza nti ye yali alabirira ennimiro, n’amugamba nti: ‘Ssebo, mbuulira gy’omutadde.’ Naye omusajja oyo bwe yamuyita nti, “Maliyamu!” awo Maliyamu yategeera nti omusajja oyo yali Yesu. Maliyamu yasanyuka nnyo n’agamba nti: “Omuyigiriza!” era ne yeekwata ku Yesu. Yesu yamugamba nti: ‘Genda ogambe baganda bange nti ondabye.’ Amangu ago, Maliyamu yadduka n’agenda n’agamba abayigirizwa nti yali alabye Yesu.

Ku lunaku olwo lwennyini, waaliwo abayigirizwa babiri abaali batambula nga bava e Yerusaalemi nga bagenda e Emawo. Omusajja omulala yabeegattako n’ababuuza kye baali boogerako. Baamugamba nti: ‘Ggwe atamanyi ky’abaddewo? Ennaku ssatu emabega, bakabona abakulu batta Yesu. Kati waliwo abakazi abagamba nti azuukidde!’ Omusajja yababuuza nti: ‘Temukkiriza bannabbi bye baayogera? Baagamba nti Kristo yandifudde era oluvannyuma n’azuukizibwa.’ Omusajja oyo yeeyongera okubannyonnyola Ebyawandiikibwa. Bwe baatuuka e Emawo, abayigirizwa abo baagamba omusajja oyo egende asule ewaabwe. Bwe baali bagenda okulya ekyeggulo, omusajja oyo yakwata omugaati, n’asaba, n’atandika okubagabira, era ne bategeera nti ye Yesu. Oluvannyuma Yesu yababulako.

Abayigirizwa abo ababiri baayanguwa ne bagenda e Yerusaalemi mu nnyumba abatume mwe baali bakuŋŋaanidde, ne bababuulira ebyali bibaddewo. Bwe baali eyo munda mu nnyumba, Yesu yabalabikira bonna. Mu kusooka, abatume tebakkiriza nti ye Yesu. Yesu yabagamba nti: ‘Mulabe ebibatu byange; munkwateko. Kyawandiikibwa nti Kristo yandizuukiziddwa mu bafu.’

“Nze kkubo, n’amazima, n’obulamu. Tewali ajja eri Kitange okuggyako ng’ayitidde mu nze.”​—Yokaana 14:6