Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 93

Yesu Addayo mu Ggulu

Yesu Addayo mu Ggulu

Yesu yasisinkana abagoberezi be mu Ggaliraaya n’abawa ekiragiro ekikulu ennyo. Yabagamba nti: ‘Mugende mufuule abantu mu mawanga gonna abayigirizwa. Mubayigirize ebintu byonna bye nnabayigiriza, era mubabatize.’ Yesu yabasuubiza nti: ‘Nja kubeeranga nammwe.’

Mu nnaku 40 ze yamala ku nsi ng’amaze okuzuukira, Yesu yalabikira abayigirizwa be bangi mu Ggaliraaya ne mu Yerusaalemi. Yabayigiriza ebintu bingi ebikulu era n’akola n’eby’amagero bingi. Oluvannyuma Yesu yasisinkana abatume be omulundi ogwasembayo ku Lusozi olw’Emizeyituuni. Yabagamba nti: ‘Temuva mu Yerusaalemi. Mulindirire ekyo Kitange ky’asuubizza.’

Abatume ba Yesu tebaategeera makulu g’ebyo bye yabagamba. Baamubuuza nti: ‘Ogenda kufuuka Kabaka wa Isirayiri mu kiseera kino?’ Yesu yabagamba nti: Ekiseera kya Yakuwa eky’okunfuula Kabaka tekinnatuuka. Naye mugenda kufuna omwoyo omutukuvu, era mujja kuba bajulirwa bange. Mugende mubuulire mu Yerusaalemi, mu Buyudaaya, mu Samaliya, n’okutuuka mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba eby’ewala.’

Oluvannyuma Yesu yatwalibwa waggulu era ekire ne kimubikka. Abayigirizwa be beeyongera okutunula waggulu okumala akaseera. Mu butuufu Yesu yali azzeeyo mu ggulu.

Abayigirizwa baava ku Lusozi olw’Emizeyituuni ne bagenda mu Yerusaalemi. Baakuŋŋaniranga mu kisenge ekya waggulu ne basaba. Baali balindirira Yesu abawe obulagirizi obulala.

“Amawulire gano amalungi ag’Obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna okuba obujulirwa eri amawanga gonna, olwo enkomerero n’eryoka ejja.”​—Matayo 24:14