Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 94

Abayigirizwa Bafuna Omwoyo Omutukuvu

Abayigirizwa Bafuna Omwoyo Omutukuvu

Nga wayise ennaku kkumi oluvannyuma lwa Yesu okuddayo mu ggulu, abayigirizwa be baafuna omwoyo omutukuvu. Olunaku lwali lwa Pentekooti mu mwaka gwa 33 E.E., era abantu bangi okuva mu bitundu eby’enjawulo baali bazze mu Yerusaalemi okukwata embaga. Abayigirizwa ba Yesu nga 120 baali bakuŋŋaanidde mu nnyumba emu mu kisenge ekya waggulu. Waaliwo okuwuuma okwali ng’okw’embuyaga okwajjula enju yonna era ennimi eziringa ez’omuliro ne zirabika. Buli lulimi lwatuula ku mutwe gwa buli omu ku bayigirizwa era bonna ne batandika okwogera ennimi ez’enjawulo.

Abagenyi abaali bazze mu Yerusaalemi baawulira okuwuuma okwo ne bajja ku nnyumba eyo okulaba ekyali kigenda mu maaso. Beewuunya nnyo okuwulira ng’abayigirizwa boogera ennimi ez’enjawulo. Baagamba nti: ‘Abantu bano b’e Ggaliraaya. Naye kijja kitya okuba nti basobola okwogera ennimi zaffe?’

Peetero n’abatume abalala baayimirira mu maaso g’ekibiina ky’abantu. Peetero yabuulira abantu engeri Yesu gye yattibwamu era Yakuwa n’amuzuukiza okuva mu bafu. Peetero yagamba nti: ‘Kati Yesu ali mu ggulu era atudde ku mukono gwa Katonda ogwa ddyo. Y’afuse omwoyo omutukuvu ku bayigirizwa be nga bwe yasuubiza. Eyo ye nsonga lwaki mulabye ekyamagero kino.’

Ebigambo Peetero bye yayogera byakwata nnyo ku bantu, ne babuuza nti: “Tukole ki?” Yabagamba nti: ‘Mwenenye ebibi byammwe era mubatizibwe mu linnya lya Yesu. Nammwe mujja kufuna ekirabo eky’omwoyo omutukuvu.’ Ku lunaku olwo abantu nga 3,000 baabatizibwa. Okuva olwo omuwendo gw’abayigirizwa gwatandika okweyongera buli lunaku mu Yerusaalemi. Omwoyo omutukuvu gwasobozesa abatume okutandikawo ebibiina bingi kibasobozese okuyigiriza abantu ebintu byonna Yesu bye yabalagira.

“Singa olangirira mu lujjudde n’akamwa ko nti Yesu ye Mukama waffe, era n’okkiriza mu mutima gwo nti Katonda yamuzuukiza mu bafu, ojja kulokolebwa.”​—Abaruumi 10:9