Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 97

Koluneeriyo Afuna Omwoyo Omutukuvu

Koluneeriyo Afuna Omwoyo Omutukuvu

Mu Kayisaaliya waaliyo omusajja ayitibwa Koluneeriyo eyali akulira ekibinja ky’abasirikale. Wadde nga teyali Muyudaaya, Abayudaaya baamussangamu nnyo ekitiibwa. Yayambanga abaavu n’abo abaali mu bwetaavu. Koluneeriyo yali akkiririza mu Yakuwa era yamusabanga bulijjo. Lumu, malayika yalabikira Koluneeriyo n’amugamba nti: ‘Katonda awulidde okusaba kwo. Tuma abasajja bagende mu kibuga ky’e Yopa, Peetero gy’abeera, bamukuyitire.’ Amangu ago Koluneeriyo yatuma abasajja basatu okugenda e Yopa, ekyali mayiro 30 ebukiikaddyo wa Kayisaaliya.

Peetero bwe yali mu Yopa, yafuna okwolesebwa. Yalaba ensolo Abayudaaya ze baali batakkirizibwa kulya, era n’awulira eddoboozi nga limugamba azirye. Peetero yagaana okulya, n’agamba nti: ‘Siryangako nsolo eteri nnongoofu.’ Eddoboozi lyamugamba nti: ‘Lekera awo okutwala ensolo ezo ng’ezitali nnongoofu. Katonda azitukuzza.’ Eddoboozi era lyamugamba nti: ‘Waliwo abasajja basatu abali ku luggi lwo. Genda nabo.’ Peetero yagenda ku luggi n’abuuza abasajja abo ekyali kibaleese. Baamugamba nti: ‘Koluneeriyo Omuruumi, akulira ekibinja ky’abasirikale, y’atutumye gy’oli. Ayagala ogende ewuwe mu Kayisaaliya.’ Peetero yayingiza abasajja abo mu nju ye n’abasaba basule. Ku lunaku olwaddako, yagenda nabo e Kayisaaliya, awamu n’ab’oluganda abamu ab’omu Yopa.

Koluneeriyo bwe yalaba Peetero, yafukamira. Naye Peetero yamugamba nti: ‘Yimuka! nange ndi muntu buntu. Katonda antumye nzije ewuwo, wadde ng’Abayudaaya tebakkirizibwa kugenda mu nnyumba z’Ab’amawanga. Kati mbuulira lwaki wantumizza.’

Koluneeriyo yagamba Peetero nti: ‘Ennaku nnya emabega bwe nnabadde nsaba, malayika yaŋŋambye nkutumye. Tukwegayiridde, tuyigirize ekigambo kya Yakuwa.’ Peetero yagamba nti: ‘Nkirabye nti Katonda tasosola mu bantu. Akkiriza omuntu yenna ayagala okumusinza.’ Peetero yabayigiriza ebintu bingi ebikwata ku Yesu. Oluvannyuma omwoyo omutukuvu gwakka ku Koluneeriyo ne ku abo bonna be yali nabo, era bonna baabatizibwa.

“Mu buli ggwanga omuntu amutya n’akola ekituufu amukkiriza.”​—Ebikolwa 10:35