Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 98

Obukristaayo Bubuna mu Mawanga Mangi

Obukristaayo Bubuna mu Mawanga Mangi

Abatume baagondera ekiragiro kya Yesu eky’okubuulira amawulire amalungi mu nsi yonna. Mu mwaka gwa 47 E.E., ab’oluganda mu Antiyokiya baasindika Pawulo ne Balunabba okugenda okubuulira. Pawulo ne Balunabba baabuulira n’obunyiikivu era baatuuka mu bitundu bingi ebya Asiya Omutono, omwali Derube, Lusitula, ne Ikoniyo.

Pawulo ne Balunabba baabuulira abantu aba buli ngeri, omwali abagagga n’abaavu, abato n’abakulu. Abantu bangi bakkiriza amazima agakwata ku Kristo. Pawulo ne Balunabba bwe baali babuulira gavana w’e Kupulo ayitibwa Serugiyo Pawulo, omusamize yagezaako okubaziyiza. Pawulo yagamba omusamize oyo nti: ‘Yakuwa agenda kukulwanyisa.’ Amangu ago omusamize oyo yaziba amaaso. Ekyo Serugiyo bwe yakiraba, yafuuka mukkiriza.

Pawulo ne Balunabba baabuulira buli wamu. Baabuulira nnyumba ku nnyumba, mu butale, ku makubo, ne mu makuŋŋaaniro. Bwe baawonya omusajja omulema mu Lusitula, abantu abaalaba ekyamagero ekyo baalowooza nti Pawulo ne Balunabba baali bakatonda era ne baagala okubasinza. Naye Pawulo ne Balunabba baagaana abantu okubasinza era ne babagamba nti: ‘Musinze Katonda yekka! Ffe tuli bantu buntu.’ Oluvannyuma waaliwo Abayudaaya abajja ne baleetera abantu okwefuulira Pawulo. Abantu baakuba Pawulo amayinja, ne bamuwalula ne bamusuula ebweru w’ekibuga nga balowooza nti afudde. Kyokka Pawulo yali akyali mulamu! Amangu ddala ab’oluganda bajja ne bamuyamba era ne bamuzzaayo mu kibuga. Oluvannyuma Pawulo yaddayo mu Antiyokiya.

Mu mwaka gwa 49 E.E., Pawulo yagenda ku lugendo olulala olw’okubuulira. Bwe yamala okuddayo mu Asiya Omutono okulaba ab’oluganda, yatwala amawulire amalungi mu bitundu bya Bulaaya. Yagenda mu Asene, Efeso, Firipi, Ssessalonika, ne mu bitundu ebirala. Siira, Lukka, n’omuvubuka omuto ayitibwa Timoseewo baali ne Pawulo ku lugendo lwe olwo. Baakolera wamu mu kutandikawo ebibiina n’okubinyweza. Pawulo yasigala mu Kkolinso okumala omwaka gumu n’ekitundu ng’anyweza ab’oluganda. Yabuulira, yayigiriza, era yawandiikira ebibiina bingi amabaluwa. Ate era Pawulo yakolanga weema. Oluvannyuma lw’ekiseera, Pawulo yaddayo mu Antiyokiya.

Mu mwaka gwa 52 E.E., Pawulo yagenda ku lugendo olw’okusatu olw’okubuulira, era yatandikira mu Asiya Omutono. Yagenda n’atuuka mu Firipi ne mu Kkolinso. Pawulo yamala emyaka egiwerako mu Efeso ng’ayigiriza, ng’awonya, era ng’ayamba ekibiina ekyaliyo. Ate era buli lunaku yabuuliriranga mu kizimbe ky’essomero. Abantu bangi baamuwuliriza era ne bakyusa amakubo gaabwe. Oluvannyuma lw’okubuulira amawulire amalungi mu bitundu by’ensi ebitali bimu, Pawulo yagenda e Yerusaalemi.

“Mugende mufuule abantu b’omu mawanga gonna abayigirizwa.”​—Matayo 28:19