Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 99

Omukuumi w’Ekkomera Ayiga Amazima

Omukuumi w’Ekkomera Ayiga Amazima

Mu Firipi waaliyo omuwala omuweereza eyaliko dayimooni. Dayimooni yasobozesanga omuwala oyo okulagula era yafuniranga bakama be ebintu bingi olw’okulagula. Pawulo ne Siira bwe baatuuka mu Firipi, omuwala oyo yabagoberera okumala ennaku nnyingi. Dayimooni yamuleeteranga okuleekaana nti: “Abasajja bano baddu ba Katonda Asingayo Okuba Waggulu.” Oluvannyuma, Pawulo yagamba dayimooni eyo nti: ‘Mu linnya lya Yesu, vva ku muwala ono!’ Dayimooni yamuvaako.

Bakama b’omuwala oyo bwe baalaba nga tebakyasobola kumukozesa kufuna ssente, baanyiiga nnyo. Baawalula Pawulo ne Siira ne babatwala eri ab’obuyinza ne bagamba nti: ‘Abasajja bano bamenya amateeka era bakyankalanya ekibuga kyonna!’ Omulamuzi yalagira Pawulo ne Siira bakubibwe emiggo era basibibwe mu kkomera. Omukuumi w’ekkomera yabasibira mu kkomera ery’omunda era ebigere byabwe n’abiteeka mu nvuba.

Pawulo ne Siira baatandika okuyimba ennyimba ezitendereza Yakuwa ng’abasibe abalala bawulira. Ekiro mu ttumbi, musisi ow’amaanyi yayita era n’akankanya omusingi gw’ekkomera. Enzigi z’ekkomera zeggula, era enjegere n’envuba ebyali ku basibe byasumulukuka. Omukuumi w’ekkomera yayanguwa n’agenda ku kkomera ery’omunda n’alaba ng’enzigi nzigule. Olw’okuba yali alowooza nti abasibe bonna baali batolose, yasowolayo ekitala okwetta.

Amangu ago Pawulo yayogera mu ddoboozi ery’omwanguka n’amugamba nti: ‘Tewetta! Ffenna mwetuli!’ Omukuumi w’ekkomera yayingira mu kkomera n’afukamira mu maaso ga Pawulo ne Siira. Yababuuza nti: “Kiki kye nteekwa okukola okusobola okulokolebwa?” Baamugamba nti: ‘Ggwe n’ab’omu nnyumba yo mukkiririze mu Yesu.’ Oluvannyuma Pawulo ne Siira baayigiriza omukuumi w’ekkomera awamu n’ab’omu nnyumba ye ekigambo kya Yakuwa era bonna ne babatizibwa.

“Abantu balibakwata ne babayigganya, era ne babawaayo mu makuŋŋaaniro ne mu makomera. Mulitwalibwa mu maaso ga bakabaka ne bagavana olw’erinnya lyange, era ekyo kiribawa akakisa okuwa obujulirwa.”​—Lukka 21:12, 13