Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 100

Pawulo ne Timoseewo

Pawulo ne Timoseewo

Timoseewo yali wa luganda omuto eyali mu kibiina ky’e Lusitula. Taata we yali Muyonaani ate maama we yali Muyudaaya. Okuviira ddala mu buto, maama we Ewuniike ne jjajjaawe Looyi baamuyigirizanga ebikwata ku Yakuwa.

Pawulo bwe yakyalako mu Lusitula ku lugendo lwe olw’okubiri olw’okubuulira, yakiraba nti Timoseewo yali ayagala nnyo ab’oluganda era ng’ayagala nnyo okubayamba. Pawulo yasaba Timoseewo amwegatteko ku lugendo lwe olwo. Pawulo yatendeka Timoseewo era Timoseewo yafuuka omubuulizi era omuyigiriza omulungi.

Omwoyo omutukuvu gwawanga Pawulo ne Timoseewo obulagirizi yonna gye baalaganga. Lumu ekiro, Pawulo yafuna okwolesebwa n’alaba omusajja ow’e Masedoniya ng’amugamba agendeyo abayambe. Pawulo, Timoseewo, Siira, ne Lukka baagenda e Masedoniya okubuulira n’okutandikayo ebibiina.

Bwe baali mu kibuga eky’omu Masedoniya ekiyitibwa Ssessalonika, abasajja n’abakazi bangi baafuuka Abakristaayo. Naye abamu ku Bayudaaya baakwatirwa Pawulo ne banne obuggya. Baakunga abantu ne bawalaawala ab’oluganda abo ne babatwala eri abafuzi b’ekibuga nga bwe baleekaana nti: ‘Abasajja bano balabe ba gavumenti ya Rooma!’ Olw’okuba obulamu bwabwe bwali mu kabi, Pawulo ne Timoseewo baasalawo okuddukira e Beroya ekiro.

Abantu b’e Beroya baawuliriza amawulire amalungi, era Abayonaani n’Abayudaaya baafuuka abakkiriza. Naye Abayudaaya abamu abaava e Ssessalonika bwe baakuma omuliro mu bantu, Pawulo yagenda mu Asene. Timoseewo ne Siira baasigala mu Beroya okunyweza ab’oluganda. Ekiseera bwe kyayitawo, Pawulo yatuma Timoseewo okuddayo mu Ssessalonika okuyamba ab’oluganda okwaŋŋanga okuyigganyizibwa okw’amaanyi kwe baali boolekagana nakwo. Era oluvannyuma Pawulo yatuma Timoseewo okukyalira ebibiina ebirala n’okuzzaamu ab’oluganda amaanyi.

Pawulo yagamba Timoseewo nti: ‘Abo abaagala okuweereza Yakuwa bajja kuyigganyizibwa.’ Timoseewo yayigganyizibwa era n’asibibwa mu kkomera olw’okukkiriza kwe. Timoseewo yasanyuka nnyo olw’okuba yasigala nga mwesigwa eri Yakuwa.

Pawulo yagamba Abafiripi nti: ‘Ŋŋenda kubatumira Timoseewo. Ajja kubayigiriza okutambulira mu mazima, era ajja kubatendeka mu mulimu gw’okubuulira.’ Pawulo yali yeesiga Timoseewo. Baakolera wamu omulimu gw’okubuulira okumala emyaka mingi era baali ba mukwano nnyo.

“Sirina mulala alina ndowooza ng’eyiye ajja okubafaako mu bwesimbu. Abalala bonna beenoonyeza byabwe ku bwabwe so si bya Yesu Kristo.”​—Abafiripi 2:20, 21