Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 101

Pawulo Asindikibwa e Rooma

Pawulo Asindikibwa e Rooma

Olugendo lwa Pawulo olw’okusatu lwakoma Yerusaalemi. Ng’ali eyo, baamukwata ne bamusiba mu kkomera. Mu kwolesebwa Pawulo kwe yafuna ekiro, Yesu yamugamba nti: ‘Ojja kugenda obuulire mu Rooma.’ Pawulo yaggibwa mu Yerusaalemi n’atwalibwa e Kayisaliya gye yamala emyaka ebiri ng’asibiddwa mu kkomera. Bwe yali awozesebwa Gavana Fesuto, Pawulo yagamba nti: ‘Njulira Kayisaali, mu Rooma.’ Fesuto yagamba nti: ‘Ojulidde Kayisaali, era ewa Kayisaali gy’ojja okutwalibwa.’ Pawulo baamuteeka ku kyombo ekyali kigenda e Rooma era ow’oluganda Lukka ne Alisutaluuko baagenda naye.

Bwe baali basaabala ku nnyanja, omuyaga ogw’amaanyi gwatandika okukunta, era gwamala ennaku eziwerako nga gukunta. Buli omu yali alowooza nti baali bagenda kufa. Naye Pawulo yabagamba nti: ‘Malayika yaŋŋambye mu kirooto nti: “Totya Pawulo. Ojja kutuuka e Rooma era ne b’oli nabo ku kyombo tewali ajja kufa.” N’olwekyo, mugume! Tetujja kufa.’

Omuyaga gwamala ennaku 14 nga gukunta. Oluvannyuma baalengera olukalu. Olukalu olwo kyali kizinga ky’e Maluta. Ekyombo kyatubira era ne kimenyekamenyeka, naye abantu bonna 276 abaali ku kyombo baatuuka ku lukalu nga balamu. Abamu baawuga ate abalala ne beekwata ku bipapajjo by’ekyombo ne basobola okutuuka ku lukalu. Abantu b’e Maluta baabalabirira bulungi era ne babakumira omuliro basobole okubuguma.

Nga wayise emyezi esatu, abasirikale baatwala Pawulo e Rooma nga bakozesa ekyombo ekirala. Bwe yatuuka e Rooma, ab’oluganda bajja okumusisinkana. Pawulo olwabalaba, yeebaza Katonda n’aguma. Wadde nga Pawulo yali musibe, yakkirizibwa okusula mu nnyumba gye yeepangisiza, nga bamutaddeko omusirikale okumukuuma. Awo yamalawo emyaka ebiri. Abantu bajjanga okumulaba, era yababuuliranga ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda ne ku Yesu. Pawulo era yawandiikira ebibiina mu Asiya Omutono ne mu Buyudaaya amabaluwa. Mu butuufu, Yakuwa yakozesa Pawulo okubuulira amawulire amalungi eri ab’amawanga.

“Mu byonna tukiraga nti tuli baweereza ba Katonda, mu kugumiikiriza okungi, mu kubonaabona, mu kuba mu bwetaavu, mu bizibu.”​—2 Abakkolinso 6:4