Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 103

“Obwakabaka Bwo Bujje”

“Obwakabaka Bwo Bujje”

Yakuwa yasuubiza nti: ‘Tewalibaawo kukaaba nate, wadde obulumi, okulwala, n’okufa. Ndisangula amaziga mu maaso gaabwe. Ebintu byonna ebibi biryerabirwa.’

Yakuwa yateeka Adamu ne Kaawa mu Lusuku Edeni babeere omwo nga bali mu mirembe era nga basanyufu. Baali ba kusinzanga Kitaabwe ow’omu ggulu era bazaale bajjuze ensi. Adamu ne Kaawa baajeemera Yakuwa, naye ekigendererwa kya Yakuwa tekyakyuka. Mu kitabo kino tulabye nti buli kimu Katonda ky’asuubiza kituukirira. Obwakabaka bwa Katonda bujja kuleeta emikisa mingi ku nsi, nga bwe yagamba Ibulayimu.

Mu kiseera ekitali kya wala, Sitaani, badayimooni, n’abantu ababi bonna bajja kuzikirizibwa. Buli omu ku nsi ajja kuba asinza Yakuwa. Tetujja kulwala wadde okufa. Buli lunaku tujja kuzuukuka nga tulina amaanyi era nga tuli basanyufu. Ensi yonna ejja kufuuka olusuku lwa Katonda. Buli omu ajja kuba n’emmere ennungi era n’amaka amalungi. Abantu bonna bajja kuba ba kisa, nga tebakola bannaabwe bintu bibi. Ensolo ez’omu nsiko tezijja kutya bantu, era n’abantu tebajja kuzitya.

Yakuwa bw’anaatandika okuzuukiza abafu, kijja kutuleetera essanyu lingi. Mu bantu abo mujja kubaamu abantu ab’edda, gamba nga Abbeeri, Nuuwa, Ibulayimu, Saala, Musa, Luusi, Eseza, ne Dawudi. Tujja kukolera wamu nabo okufuula ensi olusuku lwa Katonda. Tujjanga kuba n’emirimu mingi egy’okukola egituleetera essanyu.

Yakuwa ayagala obeere mu nsi eyo empya. Ojja kweyongera okumanya Yakuwa ku kigero ky’otolowoozanganako. N’olwekyo, ka buli omu ku ffe yeeyongere okusemberera Yakuwa buli lunaku, n’emirembe gyonna!

“Yakuwa, Katonda waffe ow’amaanyi, ogwanidde okuweebwanga ekitiibwa n’ettendo, kubanga watonda ebintu byonna.”​—Okubikkulirwa 4:11