Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebbaluwa Okuva ku Kakiiko Akafuzi

Ebbaluwa Okuva ku Kakiiko Akafuzi

Bakkiriza Bannaffe:

Ffe abaweereza ba Yakuwa twagala nnyo Ekigambo kya Katonda, Bayibuli. Tuli bakakafu nti Bayibuli erimu ebyafaayo ebyesigika, erimu obulagirizi obusingayo obulungi, era eraga nti Katonda ayagala nnyo abantu. (Zabbuli 119:105; Lukka 1:3; 1 Yokaana 4:19) Twagala nnyo okuyamba abalala okumanya amazima agali mu Kigambo kya Katonda. Eyo ye nsonga lwaki tuwandiise ekitabo kino ekiyitibwa, “Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli.” Ka tusooke tubabuulire ebimu ku bikwata ku kitabo kino.

Okusingira ddala, ekitabo kino kiwandiikiddwa okuyamba abaana. Kyokka era kisobola n’okukozesebwa okuyamba abantu abakulu abaagala okumanya ebiri mu Bayibuli. Ate era olw’okuba Bayibuli kitabo Katonda kye yawa abantu bonna, ffenna tujja kuganyulwa nnyo mu by’okuyiga ebigirimu.

Ekitabo kino kitubuulira ebikwata ku bantu okuva lwe baatondebwa. Kiwandiikiddwa mu ngeri ennyangu era etegeerekeka obulungi era etuyamba okumanya engeri ebintu ebyogerwako mu Bayibuli gye byajja biddiriŋŋanamu.

Ekitabo kino tekyogera bwogezi ku ebyo ebiri mu Bayibuli. Engeri gye kiwandiikiddwamu n’ebifaananyi ebikirimu biyamba omuntu okukuba akafaananyi n’okwessa mu mbeera y’abo ababa boogerwako.

Ekitabo kino kituyamba okukiraba nti Bayibuli kitabo ekikwata ku bantu, nga muno mwe muli abaagondera Yakuwa n’abo abaamujeemera. Kituyamba okubaako bye tuyigira ku bantu abo. (Abaruumi 15:4; 1 Abakkolinso 10:6) Ekitabo kino kigabanyiziddwamu ebitundu 14. Ku buli ntandika y’ekitundu, batulaga mu bufunze ebimu ku bintu bye tuba tugenda okuyiga mu masomo agali mu kitundu ekyo.

Bw’oba omuzadde, osobola okusomera awamu n’omwana wo essomo era ne mukubaganya naye ebirowoozo ku bifaananyi ebirimu. Oluvannyuma muyinza okusoma ebyawandiikibwa essomo eryo kwe lyesigamiziddwa. Yamba omwana wo okulaba engeri ebyo bye musomye mu Bayibuli gye bikwataganamu n’essomo eryo. Enkola eyo y’emu esobola okugobererwa ng’oyamba omuntu omukulu okumanya ebyo ebiri mu Bayibuli.

Tusuubira nti ekitabo kino kijja kuyamba abantu ab’emitima emirungi, abato n’abakulu, okubaako bye bayiga mu Kigambo kya Katonda n’okubikolerako mu bulamu bwabwe. Ekyo kisobola okubayamba okwagala Katonda n’okumusinza.

Ffe baganda bammwe,

Akakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa