Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ennyanjula yʼEkitundu 1

Ennyanjula yʼEkitundu 1

Essuula esooka mu Bayibuli eyogera ku kutondebwa kw’ebintu, era etuyamba okumanya ebintu ebirungi Yakuwa bye yakola ku nsi ne mu bwengula. Bw’oba oli muzadde, yamba omwana wo okufumiitiriza ku bintu eby’enjawulo Yakuwa bye yatonda. Muyambe okukiraba nti Yakuwa yatonda abantu nga ba waggulu nnyo ku nsolo: nga basobola okwogera, okulowooza, okuyiiya ebintu, okuyimba, n’okusaba. Era muyambe okukiraba nti Yakuwa alina amaanyi n’amagezi mangi nnyo, era nti ayagala nnyo ebitonde bye byonna, nnaddala abantu.

MU KITUNDU KINO

Katonda Yatonda Eggulu n’Ensi

Bayibuli egamba nti Katonda yatonda eggulu n’ensi. Naye omanyi malayika gwe yasooka okutonda nga tannatonda kintu kirala kyonna?

Katonda Yatonda Omusajja n’Omukazi Abaasooka

Katonda yatonda omusajja n’omukazi abaasooka n’abateeka mu lusuku Edeni. Baali ba kuzaala abaana era bafuule ensi yonna olusuku lwa Katonda.