Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ennyanjula yʼEkitundu 2

Ennyanjula yʼEkitundu 2

Lwaki Yakuwa yaleeta amataba mu kiseera kya Nuuwa? Abantu bwe baali baakatandika okubeera ku nsi, wajjawo olutalo, nga luno lwe lutalo wakati w’okukola ebirungi n’okukola ebibi. Abantu abamu, gamba nga Adamu, Kaawa, ne mutabani waabwe Kayini, baasalawo okukola ebintu ebibi. Kyokka waaliwo abantu abatonotono, gamba nga Abbeeri ne Nuuwa abaasalawo okukola ebintu ebirungi. Abantu abasinga obungi baafuuka babi nnyo era Yakuwa n’asalawo okubazikiriza. Ekitundu kino kijja kutuyamba okukiraba nti Yakuwa alaba ebyo bye tukola, era nti tasobola kuleka bintu bibi kubaawo mirembe gyonna.

MU KITUNDU KINO

Adamu ne Kaawa Baajeemera Katonda

Lwaki omuti ogwali wakati mu lusuku Edeni gwali gwa njawulo ku miti emirala? Lwaki Kaawa yalya ku muti ogwo?

Obusungu Bwamuleetera Okutta

Katonda yasiima ekiweebwayo kya Abbeeri naye ekya Kayini teyakisiima. Ekyo Kayini bwe yakimanya yanyiiga nnyo n’akola ekintu ekibi ennyo.

Eryato lya Nuuwa

Bamalayika abajeemu bwe baawasa abakazi ku nsi baazaala abaana abawagguufu era ababi. Ebikolwa eby’obukambwe byabuna buli wamu. Naye Nuuwa yali wa njawulo—yali ayagala Katonda era ng’amugondera

Abantu Munaana Be Baawonawo

Enkuba yatonnya okumala ennaku 40 emisana n’ekiro n’ereeta Amataba. Nuuwa n’ab’omu maka ge baamala ekiseera ekisukka mu mwaka nga bali mu lyato. Oluvannyuma Katonda yabagamba okufuluma mu lyato