Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ennyanjula yʼEkitundu 3

Ennyanjula yʼEkitundu 3

Bayibuli eyogera ku bantu batono nnyo abaali basinza Yakuwa mu myaka egyaddirira amataba. Omu ku bantu abo yali Ibulayimu, mukwano gwa Yakuwa. Lwaki Ibulayimu yayitibwa mukwano gwa Yakuwa? Bw’oba oli muzadde, yamba omwana wo okukiraba nti Yakuwa amwagala nnyo era nti ayagala okumuyamba. Okufaananako Ibulayimu n’abaweereza ba Katonda abalala abeesigwa, gamba nga Lutti ne Yakobo, naffe tusobola okusaba Yakuwa atuyambe. Tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kutuukiriza ebyo byonna bye yasuubiza.

MU KITUNDU KINO

Omunaala gw’e Babeeri

Abantu baasalawo okuzimba ekibuga n’omunaala gutuuke mu ggulu. Lwaki Katonda yatabulatabula olulimi lwabwe?

Ibulayimu ne Saala Baagondera Katonda

Lwaki Ibulayimu ne Saala baaleka amaka gaabwe mu Uli ne bagenda okubeera mu weema mu nsi y’e Kanani?

Bafuna Omwana!

Ekyo Katonda kye yasuubiza Ibulayimu yandikituukirizza atya? Ekisuubizo ekyo yandikituukirizza ng’ayitira mu Isaaka oba Isimayiri?

Mujjukire Mukazi wa Lutti

Katonda yatonnyesa omuliro n’obuganga ku Sodomu ne Ggomaola. Lwaki yazikiriza ebibuga ebyo? Lwaki tusaanidde okujjukira mukazi wa Lutti?

Okukkiriza kwa Ibulayimu Kugezesebwa

Katonda yagamba Ibulayimu: ‘Twala mutabani wo gw’oyagala omuweeyo nga ssaddaaka ku lusozi oluli e Moliya.’ Kiki Ibulayimu kye yakola?

Yakobo Yafuna Obusika

Isaaka ne Lebbeeka baazaala abaana abalongo, Esawu ne Yakobo. Olw’okuba Esawu ye yasooka okufuluma era ye yali agenda okutwala omugabo gw’omwana omubereberye. Lwaki yatunda omugabo gwe olw’essowaani y’emmere?

Emirembe Giddawo Wakati wa Yakobo ne Esawu

Malayika yatuuka atya okuwa yakobo omukisa? Era Yakobo yazzaawo atya emirembe wakati we ne Esawu?