Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ennyanjula yʼEkitundu 5

Ennyanjula yʼEkitundu 5

Nga wayise emyezi ebiri oluvannyuma lw’Abayisirayiri okuyita mu Nnyanja Emmyufu, baatuuka ku Lusozi Sinaayi. Nga bali okumpi n’olusozi olwo, Yakuwa yakola nabo endagaano okuba eggwanga lye eddonde. Yabakuuma era n’abawa buli kimu kye baali beetaaga, omwali emmaanu ey’okulya, engoye ezitaakaddiwa, n’aw’okusula. Bw’oba oli muzadde, yamba omwana wo okumanya ensonga lwaki Yakuwa yawa Abayisirayiri Amateeka, lwaki yabalagira okukola weema, era lwaki yassaawo bakabona. Muyambe okukiraba nti kikulu nnyo okutuukiriza bye tuba tweyamye, okubeera abeetoowaze, n’okubeera abeesigwa eri Yakuwa.

MU KITUNDU KINO

Beeyama eri Yakuwa

Abayisirayiri bwe baali okumpi n’Olusozi Sinaayi, beeyama okugondera Katonda.

ESSOMO 24

Tebaatuukiriza Ekyo Kye Beeyama

Musa bwe yali akwasibwa Amateeka Ekkumi, abantu baakola ekibi eky’amaanyi.

Weema Entukuvu

Mu weema entukuvu mwalimu ssanduuko y’endagaano.

Abakessi Ekkumi n’Ababiri

Yoswa ne Kalebu baali ba njawulo nnyo ku bakessi abalala ekkumi abaaketta ensi ya Kanani.

Baajeemera Yakuwa

Koola, Dasani, Abiraamu, n’abalala 250 baalemwa okutegeera ekintu ekikulu ekikwata ku Yakuwa.

Endogoyi ya Balamu Eyogera

Endogoyi yalaba malayika naye ng’ate Balamu tamulaba.