Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ennyanjula yʼEkitundu 6

Ennyanjula yʼEkitundu 6

Abayisirayiri bwe baatuuka mu Nsi Ensuubize, weema entukuvu yafuuka entabiro y’okusinza okw’amazima. Bakabona baayigirizanga abantu Amateeka, ate abalamuzi be baawanga abantu obulagirizi. Ekitundu kino kiraga nti ebyo omuntu by’asalawo n’ebyo by’akola bikwata ku balala. Engeri buli Muyisirayiri gye yeeyisangamu yakwatanga ku Yakuwa ne ku bantu banne. Yamba omwana wo okulaba engeri ebyo Debola, Nawomi, Yoswa, Kaana, muwala wa Yefusa, ne Samwiri bye baakola gye byakwata ku bantu abalala. Kirage nti n’abantu abataali Bayisirayiri, gamba nga Lakabu, Luusi, Yayeeri, n’Abagibiyoni, baasalawo okudda ku ludda lw’Abayisirayiri kubanga baali bakimanyi nti Katonda yali wamu nabo.

MU KITUNDU KINO

Yakuwa Yalonda Yoswa

Katonda yawa Yoswa ebiragiro ebituganyula ne leero.

Lakabu Yakweka Abakessi

Ebisenge bya Yeriko byagwa, naye ennyumba ya Lakabu yasigala eyimiridde wadde nga yali yeekutte ku kisenge.

Yoswa n’Abagibiyoni

Yoswa yasaba Katonda n’amusaba ayimirize enjuba. Yakuwa yaddamu essaala ye?

Omukulembeze Omupya n’Abakazi Babiri Abazira

Yoswa bwe yamala okufa, Abayisirayiri baatandika okusinza ebifaananyi. Obulamu bwabakalubira, naye Yakuwa yabayamba ng’ayitira mu Mulamuzi Balaka, nnabbi omukazi Debola, n’omukazi ayitibwa Yayeeri!

Luusi ne Nawomi

Abakazi babiri bombi nga baali baafiirwa abaami baabwe baagenda mu Isirayiri. Omu ku bo ayitibwa Luusi yagenda okukola mu nnimiro era omusajja ayitibwa Bowaazi n’amulaba.

Gidiyoni Yawangula Abamidiyaani

Oluvannyuma lw’Abamidiyaani okunyigiriza ennyo Abayisirayiri, Abayisirayiri baasaba Yakuwa abayambe. Eggye lya Gidiyoni eryali ettono lyasobola litya okuwangula abasirikale 135,000?

Kaana Asaba Katonda Afune Omwana ow’Obulenzi

Erukaana yatwala Kaana, Penina, n’abaana be okusinza ku weema entukuvu mu Siiro. Nga bali eyo, Kaana yasaba Katonda amuyambe afune omwana ow’obulenzi. Nga wayise omwaka gumu, Kaana yazaala Samwiri!

Yefusa Asuubiza Yakuwa

Kiki Yefusa kye yasuubiza, era lwaki? Muwala wa Yefusa yeeyisa atya ng’awulidde ku kisuubizo kya kitaawe?

Yakuwa Ayogera ne Samwiri

Batabani ba Eli ababiri baali baweereza ku weema entukuvu naye tebaagondera mateeka ga Katonda. Samwiri ye yali wa njawulo. Lumu ekiro Yakuwa yayogera ne Samwiri.

Yakuwa Yawa Samusooni Amaanyi

Katonda yawa Samusooni amaanyi n’asobola okulwanyisa Abafirisuuti, naye Samusooni bwe yasalawo mu ngeri eteeri ya magezi, Abafirisuuti baamukwata.