Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ennyanjula yʼEkitundu 9

Ennyanjula yʼEkitundu 9

Ekitundu kino kyogera ku baana, bannabbi, ne bakabaka abaayoleka okukkiriza okw’amaanyi. Omuwala Omuyisirayiri eyali mu Busuuli yali mukakafu nti nnabbi wa Yakuwa yandiwonyezza Naamani. Nnabbi Erisa yali mukakafu nti Yakuwa yandimuwonyezza okuva mu mikono gy’eggye eddene eryali limulumbye. Yekoyaada Kabona Asinga Obukulu yateeka obulamu bwe mu kabi n’akweka Yekowaasi aleme okuttibwa jjajjaawe, Asaliya. Kabaka Keezeekiya yali mukakafu nti Yakuwa yandikuumye ekibuga Yerusaalemi, era teyakkiriza kwewaayo mu mikono gy’Abaasuli. Kabaka Yosiya yamalawo okusinza ebifaananyi mu nsi ya Isirayiri, yalongoosa yeekaalu, era yayamba abantu okuddamu okusinza Yakuwa.

MU KITUNDU KINO

Omulwanyi Omuzira n’Omuwala Omuto

Omuwala omuto yabuulira muka mukama we nti Yakuwa yali asobola okuwonya omwami we era ebyavaamu byali birungi.

Eggye lya Yakuwa Eryalina Amagaali ag’Omuliro

Omuweereza wa Erisa yakimanya atya nti ’bangi abali naffe okusinga abali nabo.’

Yekoyaada Yayoleka Obuvumu

Kabona omwesigwa alemesa olukwe lwa nnaabakyala omubi.

Yakuwa Yagumiikiriza Yona

Nnabbi wa Yakuwa yatuuka atya okumiribwa ekyennyanja? Yava atya mu lubuto lw’ekyennyanja? Era kiki Yakuwa kye yamuyigiriza?

Malayika wa Yakuwa Yakuuma Keezeekiya

Abalabe ba Yuda bagamba nti Yakuwa tajja kukuuma bantu be, naye si batuufu!

Yosiya Yali Ayagala Nnyo Amateeka ga Katonda

Yosiya yafuuka kabaka wa Yuda nga wa myaka munaana, era yayamba abantu okuddamu okusinza Yakuwa.