Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ennyanjula yʼEkitundu 14

Ennyanjula yʼEkitundu 14

Abakristaayo mu kyasa ekyasooka baabuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka okutuuka mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba eby’ewala. Yesu yabayamba okumanya wa aw’okubuulira era mu ngeri ey’ekyamagero yabasobozesa okuyigiriza abantu mu nnimi zaabwe. Yakuwa yabawa amaanyi n’obuvumu okusobola okugumira okuyigganyizibwa okw’amaanyi.

Yesu yawa Yokaana okwolesebwa n’alaba ekitiibwa kya Yakuwa. Yokaana era yafuna okwolesebwa okulala n’alaba Obwakabaka obw’omu ggulu nga buwangula Sitaani n’enteekateeka ye. Era yalaba Yesu ng’afuga nga Kabaka awamu ne banne 144,000. Yokaana era yalaba ng’ensi yonna efuuse olusuku lwa Katonda, ng’abantu bonna basinza Yakuwa nga bali bumu era nga bali mu mirembe.

MU KITUNDU KINO

Abayigirizwa Bafuna Omwoyo Omutukuvu

Omwoyo omutukuvu gubasobozesa kukola ki?

Tewali Kyali Kisobola Kubaleetera Kulekera Awo Kubuulira

Abakulembeze b’eddiini abatta Yesu kati bagezaako okulemesa abayigirizwa be okubuulira. Naye balemwa.

Yesu Alonda Sawulo

Sawulo mulabe w’Abakristaayo, naye ekyo kinaatera okukyuka.

Koluneeriyo Afuna Omwoyo Omutukuvu

Lwaki Katonda atuma Peetero okugenda mu nnyumba y’omusajja ono atali Muyudaaya?

Obukristaayo Bubuna mu Mawanga Mangi

Omutume Pawulo ne banne baatandika okubuulira mu bintundu eby’ewala.

Omukuumi w’Ekkomera Ayiga Amazima

Dayimooni, musisi, n’ekitala bituuka bitya okuleetera omukuumi oyo okuyiga amazima?

Pawulo ne Timoseewo

Abasajja ababiri bakolera wamu okumala emyaka mingi era ba mukwano nnyo.

Pawulo Asindikibwa e Rooma

Olugendo lubaamu ebizibu bingi, naye tewali kizibu kiyinza kulemesa mutume ono.

Okubikkulirwa Okwaweebwa Yokaana

Yesu amuwa okwolesebwa okutali kumu okukwata ku biseera eby’omu maaso.

“Obwakabaka Bwo Bujje”

Okubikkulirwa okwaweebwa Yokaana kulaga engeri Obwakabaka bwa Katonda gye bugenda okukyusaamu obulamu ku nsi.