Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 6

Eggulu Lirangirira Ekitiibwa kya Katonda

Eggulu Lirangirira Ekitiibwa kya Katonda

(Zabbuli 19)

  1. 1. Eggulu litendereza Yakuwa.

    ’Bwengula bwoleka

    nnyo ekitiibwa kye.

    Buli lukya ’ttendo limuweebwa.

    ’Mmunyeenye zaaka ekiro;

    Zoolesa ’maanyi ge.

  2. 2. Amateeka ga Yakuwa malungi

    Era galuŋŋamya

    ’bakulu n’abato.

    ’Biragiro bye byo byesigika.

    ’Kigambo kye kirongoofu;

    Kituwoomera nnyo.

  3. 3. Okutya Yakuwa kwa lubeerera

    Era ’mateeka ge

    gasinga ne zzaabu.

    By’alagira bikuuma ’bantu be.

    Tutenda ekitiibwa kye

    Era n’ettuttumu.